TOP

Polof. Bukenya tafiira ku bbala limu

Added 12th November 2020

OMUYIMBI Kapa Cat akooye omuggalo. Ayise abawagizi be okubadde n’eyaliko omumyuka wa pulezidenti, Polof. Gilbert Bukenya n’abakuba omuziki ogubacamudde nga bwe beggyako situulesi ya Corona.

Bukenya n'ekyana nga banyumirwa obulamu.

Bukenya n'ekyana nga banyumirwa obulamu.

OMUYIMBI Kapa Cat akooye omuggalo. Ayise abawagizi be okubadde n'eyaliko omumyuka wa pulezidenti, Polof. Gilbert Bukenya n'abakuba omuziki ogubacamudde nga bwe beggyako situulesi ya Corona.

Kapa Cat ng'akooka.

Kapa Cat ng'amannya ge amatuufu ye Catherine Tumusiime eyayimba, Sifayo, Nasanga love, Understand n'endala yabadde ku Las vegas e Bunga ku kabaga ke yatuumye ‘Dine with Kapa Cat'. Yakubye ennyimba ez'okumukumu oluvannyuma n'asirikirizaamu n'abeebaza okumwagala n'okumubeererawo.

"Ekiseera kibadde kiwanvu nga tetulabagana wadde okuwuuliziganya kye navudde ndowooza ku nteekateeka eno waakiri mbayite mujje tubeereko ffenna tulyeko n'ekijjulo kuba abamu ku ffe abayimbi we banaatuggulira okuddamu okukola nga mutwerabidde."

Wadde yabayise kusanyukamu naye, akabaga kano kaabadde ka kusasulira era okuyingira wabadde osasula wakati wa 30,000/-, 80,000/- ne 200,000/-. Mu balala abaacamudde abantu ye Polof. Bukenya eyazze n'embooko y'omuwala gwe yatudde naye ku mmeeza emu era bakira balya n'okunywa ng'abalabi bwe bagamba nti Polofeesa tafiira ku bbala limu ate abalala nga bagamba nti, kirabika yabadde yeemalako situleesi y'okumuwujja akalulu mu kamyufu ka NRM.

Bakira ababalaba beewunaganya n'okwebuuza gwe yabadde azze naye. Omanyi omukulu ono yavuganya mu kamyufu ka NRM ku kifo ky'omubaka wa Busiro North n'awangulwa kati okuva olwo abadde yasirika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...