TOP

Akalulu nja kukawangula nga Biden - Museveni

Added 15th November 2020

Abakulembeze ba NRM mu West Nile nga bakwasa Museveni ekirabo. Baabadde ku Muni Yunivasite mu Arua.

Abakulembeze ba NRM mu West Nile nga bakwasa Museveni ekirabo. Baabadde ku Muni Yunivasite mu Arua.

PULEZIDENTI Museveni agambye nti agenda kuwangula akalulu ka 2021 wadde nga takuba nkuηηaana za bantu bangi okufaananako nga munnakibiina ky'aba Democrats Joe Biden bwe yawangudde akalulu ka Amerika wadde ng'abadde takuba nkuη− ηaana.

Museveni agambye nti kkampeyini ezisinga agenda kuzikolera ku mikutu gya mpuliziganya wamu n'okukuuma obutiribiri ebiragiro by'okutangira ekirwadde kya Corona. Wano kwe kuwa eky'okulabirako kya pulezidenti wa Amerika omuggya, Joe Biden gwe yagambye nti yasobodde okuwangulira banne waggulu yadde nga ye kkampeyini okusinga yazikoleranga ku mikutu gya byampuliziganya okuli leediyo, ttivvi ne yintaneeti.

Yategeezezza nti omukulembeze yenna akuba kkampeyini ez'abantu abangi ye mulabe asinga eri Bannayuganda, bwatyo n'alabula bannaNRM obutatta bantu wabula bagondere ebiragiro nga bakuba kkampeyini ez'abantu abatono. Museveni yalaze masiki gy'alina ey'ekika kya N95 esinga okubeera ey'amaanyi mu kutangira omuntu obutakwatibwa kirwadde kya Corona singa aba agyambadde n'ategeeza nti yadde agirina era tayinza kukuba kkampeyini z'abantu bangi yadde okuyimirira okuwuubira ku bawagizi be ababeera bamulindiridde ku makubo mu bifo gy'abeera agenze okukuba kkampeyini ez'abantu abatono ddala.

"Obulwadde buno gyebuli era mu kkampeyini ηηaanye okutta abantu bange ne bwe nsanga nga bannindiridde ku makubo sivaayo kubawuubira yadde okubabuuzaako, awo mba siri mukulembeze wabula mbeera mulabe," Pulezidenti Museveni bwe yagambye. Yayongedde okujjukiza Bannayuganda nti obulwadde bwa Corona tebusosola k'abeere muto bumukwata era ne mu ggwanga nga erya Amerika gye baasooka okubunyooma bubasse nnyo.

Museveni okwogera bino yasinzidde mu disitulikiti y'e Nebbi ku kisaawe ku Lwokutaano bwe yabadde asisinkanye abakulembeze ba NRM mu disitulikiti eno mu kaweefube gw'aliko ow'okunoonya akalulu. Museveni mu kwogera yayongedde okukolokota bannabyabufuzi abazannya ebyobufuzi byabwe nga babyesigamya ku myaka gy'abo abeesimbyewo n'ategeeza nti emyaka tegirina makulu mu byabufuzi, ekisinga okwetaagisa kwe kuleeta ebirowoozo ebigenda okugonjoola ebizibu ebiruma abantu.

Pulezidenti yawadde obweyamo ng'enguudo ezisinga mu West Nile bwe zigenda okukolebwa nti era ne ssente si za kwewola wabula weeziri. Wano we yasinzidde n'asaba ababaka ba palamenti aba NRM bulijjo okusoosowazanga ensonga eziruma abantu mu nkola y'emirimu gyabwe okusinga okwefaako bokka. Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Uganda, Gen. Moses Ali yategeezezza Museveni nti enguudo embi mu kitundu kya West Nile kye kyavuddeko ababaka abasinga mu kitundu kino okugwa mu kamyufu k'ekibiina akaakaggwa bwatyo n'asaba pulezidenti anoonyereze ku nsonga eno.

Omumyuka wa Sipiika, Jacob Oulanyah yategeezezza abavubuka nga bwe bateekeddwa okukimanya nti emirembe mwe beeyagalira gyaleetebwa pulezidenti Museveni era ebiseera byabwe eby'omu maaso basaanye babimukwase. Yagasseeko nti bannaNRM basaanye okwongera amaanyi mu kunoonyeza Museveni akalulu nga bakanoonya nju ku nju.

E Nebbi abawagizi ba pulezidenti Museveni baayisizza ebivvulu mu tawuni ng'akabonero ak'okumulaga obuwagizi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....