TOP

Bp. Nsubuga atongozza Obusumba bw'e Kasana

Added 16th November 2020

BANNABYABUFUZI bakubiriziddwa okutuukirizanga obweyamo bwe bakola buli lwe babaako ebifo by’obukulembeze bye beegwanyiza. Bino byayogeddwa Omulabirizi w’e Luweero, Eridad Nsubuga bwe yabadde atongoza obusumba bwa St. James C.O.U Kasana.

Omulabirizi Nsubuga ng'asabira ekituuti.

Omulabirizi Nsubuga ng'asabira ekituuti.

BANNABYABUFUZI bakubiriziddwa okutuukirizanga obweyamo bwe bakola buli lwe babaako ebifo by'obukulembeze bye beegwanyiza. Bino byayogeddwa Omulabirizi w'e Luweero, Eridad Nsubuga bwe yabadde atongoza obusumba bwa St. James C.O.U Kasana.

Omulabirizi Nsubuga yeeyambisizza ekitabo ky'Omubuulizi (Ecclesiastics) 5:4 n'agamba nti kibi okusuuubiza nga tojja kutuukiriza oba okukandaaliriza ebantu by'oba wasuubiza anti kino oluusi kibamalamu essuubi. Yategeezezza nti ssinga oba teweekakasa kukola kintu kiba kirungi n'otasuubiza waakiri abantu ne bakulaba bulabi ng'okoze.

Nsubuga yajjukizza Abakristaayo b'e Kasana nti gye bakoma okulinnya eddaala n'okusoomoozebwa kweyongera wabula n'abagumya nti oyo Katonda ayabasobozesezza okutuuka ku ddala ly'Obusumba era y'omu ajja okubayambanga bulijjo.

Yeebazizza Pulezidenti Museveni olw'okutuukiriza obweyamo bwe obw'okuzimba Ekkanisa n'ennyumba y'Omusumba eby'e Kasana kyokka n'amusaba ng'ayita mu minisita avunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti, Wilson Muruli Mukasa abayambeko ne ku kkanisa y'e Kirema kubanga erabika bubi so nga ya byafaayo nnyo.

Omulabirizi Nsubuga era yeebazizza omutaka Kisero (hhonge) olw'okuwaayo ettaka okuzimbako Ekkanisa eno kyokka n'agugumbula abantu naddala Abazzukulu b'abo abaawaayo ettaka mu bifo eby'enjawulo okuzimbako ekkanisa ate okwagala okulyeddiza n'agamba nti basaanidde okwenenya kubanga ekyo kikolwa kya sitaani.

Omukolo gwatandise na kutukuza kkanisa, Omulabirizi n'abatiza omwana w'Omusumba w'e Kasana Harriet Nakayenga Lukwago. Muruli Mukasa eyakiikiridde Pulezidenti yeebazizza Abakristaayo olw'okunyiikira okuzimba Obwakabaka bwa Katonda.

Yategeezeeza nti Pulezidenti musanyufu olwa pulojekiti ezikoleddwa mu Busumba buno era n'ategeeza nti omukulembeze yamusabye bamutegeeze bye beetaaga abimutwalire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...