TOP

Mao asuubizza okuzzaawo ebibiina by'obwegassi

Added 16th November 2020

Mao ng’ayogera n’abatuuze mu bitundu by’e Ibanda.

Mao ng’ayogera n’abatuuze mu bitundu by’e Ibanda.

NOBERT MAO eyeesimbyewo okuvuganya ku Bwapulezidenti bw'eggwanga ku kkaadi ya DP, yasabye abantu b'e Ibanda okusaba Pulezidenti Museveni ave mu ntebe mu mirembe abataase okubonaabona nga bwe gwali mu Acholi.

Yagambye nti nga ye ava mu kitundu kino Abacholi n'Abalango baabonaabona nga Amin awambye Gavumenti era bangi baawalirizibwa okudduka mu ggwanga nga babayigga nga enjobe. Mao yabadde Ibanda n'ategeeza nti ekimu ku bisinze okulema Museveni bwe buli bw'enguzi n'obulyake ebifumbekedde mu Gavumenti ng'ababba ensimbi z'eggwanga tewali abakuba ku mukono.

N'agamba nti ng'aweereddwa obuyinza tajja kukkiriza muntu yenna kubba ssente za ggwanga. Yeeyamye okulaba ng'ebibiina by'obwegassi omuli ekya Banyakole Kweterana ebyaggyibwawo ng'abikomyawo abalimi n'abalunzi baddemu okweyagala kubanga mu budde obwo baali bafuna ssente ezisomesa abaana baabwe.

Yalaze okunnyolwa olw'eggwanga eryali limanyiddwa ng'erisinga mu byobulimi nga mu kiseera kino waliwo abalimi abatakyasobola wadde okuweereraabaana baabwe. Yagambye nti ekitongole ky'amasannyalaze ekya UEB, kyatemebwamu ebiwayi bisatu ky'agamba nti takiwagira nga kirina kubeera wamu ne kisobola okuweereza abantu obulungi.

Mao mu Ibanda yeegiriisizza nga poliisi teyamutaataaganyizza nga yatuuse n'okukuba enkuη− ηaana mu butale bw'omubuulo ng'obwedda ayimirira mu bubuga bwonna bw'ayitamu n'ayogera n'abantu nga poliisi emuwerekera buwerekezi.

Wabula bwe yabadde agenda okwogera ku leediyo ya Iraka FM mu kibuga ky'e Ibanda, poliisi yabadde egezaako okumulemesa kyokka oluvannyuma n'emukkiriza n'asaba abantu b'e Ibanda obutalonda babaka abekkiririnya wabula abajja okubaweereza obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...