TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu baagala abeesimbyewo bakulembeze kukola ku byabulamu

Abantu baagala abeesimbyewo bakulembeze kukola ku byabulamu

Abakungubazi mu lumbe lwa Nangobi eyali muka Mukisa.

Abakungubazi mu lumbe lwa Nangobi eyali muka Mukisa.

OKUNOONYEREZA Vision Group etwala ne Bukedde kwe yakoze, yakizudde nti mu bizibu ebisinga okunyigiriza abantu bye baagala abeesimbyewo bakoleko, ebyobulamu bikwata kisooka.

Ekitundu ky'amasekkati (Buganda) abantu 17.8 ku 100 abaabuuziddwa, kye baakulembezza mu bibanyiga, mu buvanjuba bw'eggwanga abantu 12.6 ku 100 bali bubi ate mu bukiikakkono bwa Uganda 12.1 ku 100 kye basimbako amannyo, obugwanjuba osangayo abantu 13.0 ku 100 abeekokkola embeera y'ebyobulamu.

Okunoonyereza kwalaze nti ebitundu by'eggwanga byonna ekizibu ekisinga obunene ly'ebbula ly'eddagala mu malwaliro ag'obwannannyini n'aga gavumenti. Kino kiddirirwa abantu abatambula eηηendo empanvu okutuuka mu bifo we bayinza okufunira obujjanjabi. Kyokka mu bitundu bya Buganda bagamba nti ekisinga okubanyiga kwe kutuuka mu malwaliro nga tewali ddagala kyokka nga bamaze okusiyagguka eηηendo empanvu. Kuno bagattako okusanga amalwaliro nga macaafu naddala abakyala gye bazaalira kyokka nga n'amalwaliro gano matono nnyo okusinziira ku bwetaavu obuliwo.

Ekitundu kya Buganda era bagamba nti ebikozesebwa mu malwaliro tebiriiwo ate we babisanga tebasangawo bakugu balina kubikozesa. Ambyulensi ntono nnyo n'ebitanda ebikozesebwa mu busenge gye bajjanjabira abayi (intensive care units) amalwaliro tegabirina.

Wabula ekitundu kya Buganda newankubadde nga kiraajana ku kubeera ng'abakugu okuli badokita n'abasawo batono ate okunoonyereza kuzudde nti ekizibu kino kisinga kulabikira mu bugwanjuba. Ekizibu ekirala ekyazuuliddwa nga kinyiga abantu mu bitundu byonna, enguzi esukka ng'ekolebwa mu ngeri ez'enjawulo.

Eddagala libbibwa awamu n'osanga ng'omuntu ly'alina okufuna ku bwereere balimuguza oba okumutegeeza nti teririiwo mu ddwaaliro eryo ne bamusindika aligule mu maduuka oba obulwaliro ate ng'abasawo abamusindikayo be bannannyinigo. Ebizibu ebitawaanya abantu mu Buganda enguzi ekwata kyakusatu, mu buvanjuba n'obukiikakkono ekwata kyamukaaga ate mu Bugwanjuba eri mu kyakutaano mu bizibu ebitawaanya abantu.

Abali mu kitongole ky'ebyobulamu si basanyufu oluvannyuma lwa Gavumenti okubalagajjalira n'erinda kuvaayo nga waguddewo obuzibu nga bwe kyabadde ku Yosiya Mukisa 20, omutuuze ku kyalo Wakiwungu mu muluka gw'e Wandegeya Kityerera mu disitulikiti y'e Mayuge.

Mukyala wange yafiira ku lubalaza ng'azaala                                                                                                                                                Yosiya akyekokkola abasawo b'eddwaaliro lya Gavumenti ekkulu e Jinja olw'okulagajjalira mukazi we n'afi ira ku lubalaza ng'azaala. Mukisa agamba nti nga October 27, 2020, mukyala we Sylivia Nangobi 23, yatandika okulumwa olubuto ku makya n'amuddusa mu ddwaaliro e Kityerera Health Centre IV n'asangayo omusawo omu yekka eyamusaba emitwalo 45 nga tagirina.

Yamuvuga ku bbooda n'amutwala mu Mayuge Health Centre IV ne babagoba nti omusawo azaalisa taliiwo, yamutwala ku St. Francis Buluba ng'omulwadde avaamu omusaayi, wano baabagoba nti omulwadde tebamusobola era ne babawa Ambyulensi eyabatwala ku ddwaaliro ekkulu e Jinja gye baasanga abawala abayiga obuzaalisa nga be baliwo bokka. Omulwadde baamutuuza mu kagaali ku lubalaza nga bwe bakubira ddokita omuzaalisa essimu ataali ku ddwaaliro.

Ono yagaana okujja okutuusa omukazi bwe yafi ira ku lubalaza. "Nsaba Gavumenti bwe wabaawo ky'etatuukiriza bulungi eri abasawo baabwe, etuyambe ekikole kuba ffe abantu ffe tubonaabona, abantu baffe bafa nga tebandifudde. Abasawo bakambwe nnyo gye tuli tulinga abazza omusango okulwala n'okulwaza," Mukisa bwe yalaajanye.

Omwezi oguwedde minisitule y'ebyobulamu yakola okunoonyereza ku malwaliro ga Gavumenti gonna mu Uganda n'ekizuula nti abasawo bangi baasigaza mannya mu bitabo by'amalwaliro naye nga tebakyalinnyayo, abalala batuuka kikeerezi ku mulimu ate ne bavaawo mangu.

Nga October 19, 2020, omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu, Dr. Diana Atwine yabaga ekiwandiiko ekirabula abakulira amalwaliro ga Gavumenti gonna okuwaayo okwewozaako kwabwe mu buwandiike lwaki abasawo beebuzaabuza ku mirimu era n'abawa wiiki bbiri ng'ensonga eno erambuluddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...