TOP

Abasawo balaze ensonga ezibagoba mu malwaliro

Abaserikale nga bayamba agudde ku kabenje okumutwala mu ddwaaliro.

Abaserikale nga bayamba agudde ku kabenje okumutwala mu ddwaaliro.

Dr. Warren Nuwagaba Tumwine omukugu mu ndwadde ezitulira (ezikwata) okuva e Mulago agamba nti yeewuunya Dr. Atwine okuvaayo ng'avunaana abasawo obutaba mu malwaliro kyokka ng'ensonga eno emaze emyaka mingi nga Gavumenti ekimanyi naye yalemwa okugimalawo.

Dr. Nuwagaba.

Okubeera n'abantu abatalina mazima mu kitongole ky'ebyobulamu kye kireetedde abasawo obutaba mu malwaliro. Ekyokulabirako Dr. Atwine ekituufu akimanyi bulungi nti abasawo si basanyufu n'engeri gye basasulwamu, naye okwagala okubuzaabuza omuntu wa wansi nti Gavumenti efaayo nnyo y'ensonga lwaki asobola okufulumya ekiwandiiko bwe kiti.

Abakulu abali mu bifo ebiteekerateekera ebyobulamu bafuna ssente nnyingi omuli n'okubuzaabuza eza ddokita asiiba ku ddwaaliro, abasawo si basiru bino byonna babimanyi naye abamu batya okubyogera.

Ekituufu abasawo basasulwa mmere ya leero ate nga bakola nga bulogoyi, omusawo asookerwako asasulwa emitwalo 60 nga kuno toggyeeko misoso emirala, ddokita asookerwako mitwalo 94, bw'oggyako emisoso asigazaawo emitwalo nga 70 kyokka omulimu gukufuga ekiro n'emisana. Enguzi ssinga ekendeera mu minisitule y'ebyobulamu omuwendo gw'abantu abafa olw'abasawo okubula mu malwaliro gujja kukendeera.

Dr. Ekwaro.

Gavumenti efuna ssente z'abasawo abakola ku kujjanjaba abalwadde ba ssennyiga omukambwe naye ssinga obuuza abasawo abo ssente mmeka ze bafuna oyinza okwewuunya. Dr. Ekwaro Obuku eyaliko pulezidenti w'ekibiina ky'abasawo ekya Uganda Medical Association ate omusomesa w'abasawo ku yunivasite e Makerere agamba nti omuwendo gw'abasawo mu malwaliro mutono bw'ogeraageranya n'abalwadde abeetaaga obujjanjabi buli lunaku ekiro n'emisana.

Osanga eddwaaliro limu nga lirina abasawo abazaalisa babiri bokka, kyokka omu aba alina okugenda mu luwummula kuba kya tteeka omukozi wa Gavumenti okuwummulamu. Kati ssinga omu aba taliiwo oba alwadde kitegeeza abalwadde be babonaabona. Ng'oggyeeko omusawo okugenda mu luwummula olukkirizibwa, abasawo abamu bakoowu, abamu beebuzaabuza ku mirimu naye ng'ensonga baba beeyiiya bwe bafunamu ssente okuyita mu bizinensi z'ebbali.

Abasawo abamu balina obulwaliro obwabwe era kino ne Gavumenti ekimanyi, tekiri mu mateeka omusawo wa Gavumenti okuba ne bizinensi ebbali naye kikolebwa. Olwokuba Gavumenti ekimanyi nti tesobola kusasula basawo ssente zibagwana, ensonga eno bagibuusa amaaso naye abasawo baba banoonya muwogo ng'enjogera ya leero.

Gavumenti tesobola kusasula basawo kimala, ky'erina okukola kwe kwongeza ku muwendo gwabwe mu buli ddwaaliro, basigale nga basasulwa nga bwe kiri naye nga tebakola ssaawa mpanvu okusobola okutaasa omuntu wa bulijjo.

Dr. Mirembe.
Amalwaliro obutabaamu bikozesebwa kigoba abasawo                                                                                                                              Dr. Joel Mirembe ssentebe w'ekibiina ky'abasawo abatannasussa myaka 10 mu kujjanjaba abantu ate omuwandiisi wa Uganda Medical Association ekibiina ekitwala abasawo bonna mu ggwanga agattako nti okuleka nga Gavumenti etadde ebikozesebwa mu malwaliro, abasawo tebajja kunywerayo. Nze mbadde dokita e Mulago, Kiruddu wamu ne Kawempe Mulago Referral Hospital naye tekigasa omusawo okukeera mu ddwaaliro naye nga n'empiso eggyako omusaayi teriiwo.

Leero okugenda mu ddwaaliro lya Gavumenti, ggwe nnannyini mulwadde ogula buli kimu ekikola ku mulwadde wo, kino kimalamu abasawo amaanyi kuba okuva ku makya bw'ayingidde asindika bajjanjabi bweru bagule eddagala n'ebirala.

Ebyuma ebikebera nga X-Rays,CTScan n'ebirala birina kuba bya bwereere naye abalwadde babisasulira buwanana era bangi bafudde olw'okubulwa ssente zino. Nze banzaala Bukunge mu Ggombolola y'e Nkozi naye mu konsitityuwense yonna temuli yadde eddwaaliro lya Health Center IV, kati omuwendo gwa Bannayuganda gugejja buli lunaku, abalwadde bano bonna okuva mu bitundu bino byonna bajjula Mulago eteri bikozesebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...