TOP

Omukugu mu kujjanjaba ensigo aziikiddwa

Added 16th November 2020

Bafaaza nga basabira Dr. Kigonya ( mu katono e Kajjansi.

Bafaaza nga basabira Dr. Kigonya ( mu katono e Kajjansi.

DOKITA abadde omukugu mu kujjanjaba endwadde z'ensigo afudde. Dr. Edward Kigonya ow'e Lumuli mu Kajjansi Town Council mu disitulikiti y'e Wakiso ye yafudde n'aleka abatu mu kiyongobero. Dr. Kigonya w'afiridde y'abadde omusawo omukulu eyeebuuzibwako mu by'ekikugu naddala mu kujjanjaba endwadde z'ensigo.

Omugenzi Dr. Kigoonya.

Fr. Francis Sseguya eyakulembedde Mmisa y'okusabira omugenzi yasiimye emirimu Dr. Kigonya gy'akoze ku nsi naddala okwagala ennyo eddiini n'atuuka n'okuwaayo ettaka ku lw'e Klezia n'asaba n'abantu abalala okumulabirako. Harriet Kiddu omu ku baffamire yagambye nti omugenzi ebadde mpagi luwaga mu ffamire. Ssentebe w'ekyalo kino, Godfrey Ssali yagambye nti ekyalo kifiiriddwa omusomesa era omuntu ayagala abantu.

EBIKWATA KU DR. KIGONYA                                                                                                                                                                                 Dr. Kigonya yazaalibwa mu 1941 mu maka ga Joseph Wasswa Masanso ne Angella Namusoke e Bugonzi Masaka. l Yasomera ku Kibanda Primary School, St. Henry's Kitovu okutuuka bwe yamaliriza S6 n'agenda mu Lovanium University in Kinshasa mu Congo gye yafunira diguli ye eyasooka mu by'eddagala.

Mu 1974 yafuna diguli eyookubiri mu by'eddagala okuva mu Makerere University. Yagattibwa ne mukyala we Rosemary Nakasi Nsibirwa mu 1973. l Kigonya yakulirako eddwaaliro ly'e Mulago era nga ye mukugu eyeebuuzibwako ate nga y'akulira abajjanjaba obulwadde bw'ensigo.

Yakulirako akakiiko akakulembera eddwaaliro lya St. Francis Hospital Nsambya mu 2001. l Y'omu ku batandikawo eddwaaliro kya Kampala Hospital oluvannyuma ye ne mukyala we Rose Kigonya baatandika eddwaaliro lya Nile clinic. l Dr. Kigonya yakulirako African Medical Association era yakiikirirako abasawo mu lukiiko lwa Buganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...