TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Kayunga eddwaaliro ekkulu baliddizza minisitule y'eby'obulamu

Ab'e Kayunga eddwaaliro ekkulu baliddizza minisitule y'eby'obulamu

Added 16th November 2020

Eddwaaliro ly'e Kayunga bwe lifaanana kati.

Eddwaaliro ly'e Kayunga bwe lifaanana kati.

DISITULIKITI y'e Kayunga yeggyeko obuvunaanyizibwa okuddukanya eddwaaliro ekkulu ery'e Kayunga ne baliwayo mu minisitule y'ebyobulamu erisuumuse ne lifuuka ‘Regional referal'.       

Bakansala nga bafuna amasala oluvannyuma lw'okuyisa ekiteeso.

   

Abasawo bonna n'abakozi abalala balagiddwa okuddamu buto okusaba emirimu. Eddwaaliro lino lyawedde okuddaabiriza n'okuligaziya era nga lyawemmense obuwumbi 70 gavumenti ze yeewola mu bbanka ya ADB.           

Bakansala baatudde ne basalawo nti ssente obukadde 400 ze bateeka ku ddwaaliro lino buli mwaka tezikyamala kuliddukanya kubanga kati ligaziyiziddwa nnyo ne bazimbako n'ebifo ebijjanjaba endwadde ez'ekikugu n'olwekyo tebakyasobola kulyesibako.         

 Eddwaaliro lino lyazimbibwa mu myaka gya 1970 libadde lyafaafagana ng'ebintu bingi tebikyakola era nga lyeyunirwa abalwadde okuva mu disitulikiti okuli Kayunga, Mukono, Kamuli, Nakasongola, Buikwe n'endala ezeetoolodde Kayunga.           Kwazimbiddwaako n'eddwaaliro eritali lya lukale nga ng'okukujjanjabirayo olina okusasula ssente.

Bagumizza abasawo ababadde bakolera mu ddwaaliro lino nti tebagenda kufiirwa mirimu wabula bonna baakuddamu okusaba emirimu abataayite mu kasengejja baakuddizibwa disitulikiti ebagabe mu malwaliro gaayo amalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....