TOP

Engeri gye baakutte munne wa Yiga Abizzaayo

Added 17th November 2020

Kusasira (owookusatu ku kkono) ne Siraje ku mukolo gw’amatikkira g’abayizi.

Kusasira (owookusatu ku kkono) ne Siraje ku mukolo gw’amatikkira g’abayizi.

ABASERIKALE baayazizza ekkanisa ya Siraje Semanda e Bombo gattako ennyumba gy'apangisa e Namaliga mu Bombo. Bino biddiridde okukwata Siraje n'avunaanibwa emisango 17 egy'okufera abantu ssente eziri mu buwumbi.

Poliisi ng'eri munda mu kkanisa ya Siraje Ministries e Bombo nga bagyaza. Awali saako y'omu ku baserikale.

Kigambibwa nti abadde aggya ku bitongole n'abantu ssente ng'abasuubizza okuwa abaana baabwe bbasale gattako okutwala abantu e Yisirayiri ne South Africa. Abadde akolagana n'ebitongole nga Operation Wealth Creation n'asuubiza abantu okubayamba okuva mu bwavu ng'ayita mu kubawa endokwa z'emmwaanyi, ensigo, ente n'ebintu ebirala.

Kigambibwa nti abadde akolagana n'abamu ku bantu be yava nabo ewa Pasita Yiga Abizzaayo okuli Nabbi Omukazi ne muganda we Benah Nabasinga. Ttiimu ya Lt. Col. Edith Nakalema enoonyereza ku bigambibwa nti baakanyaga ku bantu ssente eziri mu buwumbi butaano (akawumbi kalimu obukadde 1,000).

Siraje baamukwatidde ku nsalo ya Uganda ne Tanzania e Mutukula ng'adduka. Abaserikale baakuliddwa omuduumizi wa poliisi y'e Luweero Abraham Tukundane. Abalala ababadde bakolagana ne Siraje kuliko omuyimbi Catherine Kusasira. Eggulo Pasita Mondo Mugisha, Robert Rwakandere akola mu ofi isi ya Pulezidenti ne Dr. Hilary Musoke Kisanja omukunzi w'abavubuka mu ofi isi ya Pulezidenti beeyanjudde ewa Nakalema.

Kyokka Kisanja yategeezezza nti talina nkolagana ne Siraje. Yamulabira ku mukolo gw'abavubuka ba Ghetto ogwategekebwa Buchaman. Catherine Kusasira yagambye nti baamuyita buyisi ku mukolo tali mu byakufera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...