TOP

Museveni by'anaakola mu Acholi

Added 17th November 2020

PULEZIDENTI Museveni agambye nti agenda kukwata abakulira abakozi mu disitulikiti (CAO) ne ba RDC abalagajjalira emirimu gyabwe ne batuuka okuvumaganya Gavumenti. Museveni eyayaniriziddwa mu maanyi n’ekitiibwa mu kibuga Gulu, bino yabyogeredde ku kkanisa ya Watoto Church e Gulu mu kkampeyini ze ez’obwapulezidenti.

Abawagizi ba NRM nga beera emmotoka ya Pulezidenti Museveni w’eyita.

Abawagizi ba NRM nga beera emmotoka ya Pulezidenti Museveni w’eyita.

PULEZIDENTI Museveni agambye nti agenda kukwata abakulira abakozi mu disitulikiti (CAO) ne ba RDC abalagajjalira emirimu gyabwe ne batuuka okuvumaganya Gavumenti. Museveni eyayaniriziddwa mu maanyi n'ekitiibwa mu kibuga Gulu, bino yabyogeredde ku kkanisa ya Watoto Church e Gulu mu kkampeyini ze ez'obwapulezidenti.

Abawagizi ba NRM nga bayisa ebivvulu mu kibiga ky'e Gulu.

"Kyennyamiza okutuuka mu kitundu nga nnayikonto zonna zaafa, kyokka be kikwatako ba CAO ne RDC nga balemeddwa wadde okutegeeza be kikwatako okugonjoola ekizibu," bwe yalabudde.

Yagasseeko nti kati okuliisa ebijanjaalo empiso kuweddewo n'asaba abantu okuloopa abakulu abo kuba bakozi be era agenda kubasiba buli gwanaazuula nga yava ku mulamwa. Ku ssente ezisabibwa amasomero ga Gavumenti agalimu Bonnabasome ayagala ziviirewo ddala abayizi babeere nga tebalina kye basasula kuba akizudde nga zikaluubiriza abanaku.

Pulezidenti era yeekokkodde obubbi bw'eddagala mu malwaliro ga Gavumenti, kyokka n'agumya abantu nga bwe baafunye ekyuma eky'omulembe ekigenda okukirondoola okuva mu kkolero, mu National Medical Medical Stores gye lisooka okuterekebwa okutuukira ddala mu malwaliro ga wansi.

Kyokka eggulo kyabadde kyanjawulo, ebikumi n'ebikumi by'abantu bwe baalinze Pulezidenti mu bungi ng'akyama ku kkanisa ne beeyiwa mu kkubo n'okwera enguudo. Abawagizi ba NRM nga beera emmotoka ya Pulezidenti Museveni w'eyita. Museveni by'anaakola mu Acholi wadde teyavudde mu mmotoka zaasibyeemu n'abawuubirako.

Omumyuka wa sipiika, Jacob Oulanyah yasiimye emirimu Pulezidenti gy'aleese mu kitundu kya Acholi bwe yamalawo abayeekera ba Joseph Kony abaali babatirimbula. Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda yalaze enkulaakulana y'enguudo ezikoleddwa mu kitundu n'asaba abantu okwongera okwesiga omusajja omukulu ow'enkoofi ira kuba y'asobola eggwanga.

Leero Pulezidenti Museveni lw'akomekkereza okunoonya obululu mu kitundu kya Acholi ng'olukuηηaana olusembayo lwakubeera Kitgum gy'agenda okusisinkanira abakulembeze ba NRM mu kitundu. Ebimu ku bintu Gavumenti ya NRM bye yeenyumirizaamu mu kitundu mulimu okukola enguudo.

Ezimu zaali zaasuubizibwa mu kisanja kino era ne zikolebwa okuli; Atyiak - Nimule (35 km), Acholibur - Kitgum - Musingo (86.4 km), Gulu - Acholibur (77.7km) ne Olwiyo - Gulu (70.3 km). Endala ezaali mu mbeera embi ziddaabiriziddwa okuli; Kafu - Kiryandongo - Kamdini (43 km), Kamdini - Gulu (62 km).

Endala empya ezikolebwa kuliko; Atyiak - Adjumani - Umi (65 km) ate ng'oluguudo lwa Apac - Lira - Puranga oluweza kiromita 100 lunaatera okutandika okukolebwa. Ku nguudo Gavumenti kw'egasse okugula emigabo mu kkolero lya sukaali erya Atiak Sugar Factory. Amaka agasukka 7,000 gaweereddwa ensigo z'ebikajjo mu disitulikiti y'e Amuru ne Lamwo era ne bayambibwa n'okutegeka ettaka kwe balimira.

Ng'eyita mu Uganda Development Bank, Gavumenti egenda kukolagana n'essaza ekkulu erye Gulu batandikewo ekkolero lya Starch. Kino kyakuyamba abalimi okufuna akatale ka muwogo. Gavumenti ya NRM era eri mu ntegeka za kugula migabo mu Bukona Agro Factory esangibwa e Nwoya ekola ethanol okuva mu muwogo.

Gavumenti egenda kuwaayo obuwumbi 11 okugula emigabo era nga minisitule y'ebyensimbi yamaze dda okuwaayo ssente zino. Ekitongole kya NAADS kiri mu ntegeka z'okutandikawo ekkolero ly'ebibala erigenda okuzimbibwa e Nwoya ng'eri wamu ne kkampuni y'obwanannnyini eya "Delight".

Oluvannyuma lw'okuteekawo ekkolero, bbanka y'eggwanga eya Uganda Development Bank ejja kuteekamu ssente. Amakolero ana agagenda okuzimbibwa gagenda kuyamba abalimi b'ebikajjo, aba muwogo n'abeebibala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...

Bannaddiini mu kuziika omugenzi Kibuuka Musoke.

Amagye ga Gavumenti ya Ethi...

ADDIS ABABA, Ethiopia ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu...

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

Ekiraamo kya Zizinga kiwuun...

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira....

Hajji Jamir Ssebalu.

'Abakozi mufeeyo ku mirimu ...

Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza...