Richard Kawooya Luyonde 54, abadde omusuubuzi w'eby'ennyanja abadde akolera mu kkampuni ya Gishenyi Fish Supplies etunda eby'ennyanja e Rwanda n'e Congo enfa ye yalese ebibuuzo ekyawalirizza poliisi y'e Masaka okukwata abantu babiri bagiyambeko mu kunoonyereza.
Luyonde abadde mmemba mu kibiina kya Father's Union kigambibwa nti, yatemuddwa ku Ssande abaamusse ne bapanga akabenje okugezaako okubuza obujulizi.
Mmotoka gye yabaddemu kika kya FUSO, baagitomezza omuti okulaga nti yabadde afudde kabenje kyokka mutabani we, Edward Mubanda Kabuye yagambye nti, kitaawe baamukubye nnyondo.
Yagambye nti, omulambo gwe gwasangiddwako ebisago by'ennyondo bisatu ku mutwe era bateebereza nti, yasoose kuttibwa oluvannyuma ne bapanga akabenje.
Aba ffamire baategeezezza nti, ddereeva Hassan Kato yabakubira essimu n'abagamba nti, baabadde bagudde ku kabenje era Luyonde afiiriddewo mbulaga ate ye, (Kato) aliko kikuba mukono wabula baagenze okutuuka awagudde akabenje ku kyalo Kingo mu disitulikiti y'e Lwengo nga Kato talabikako.
Nnamwandu yakaabizza abantu mu kusaba olw'engeri gye yanyumizza emboozi yabwe eyasembyeyo ne bba gw'abadde amaze naye emyaka 34 mu bufumbo.
Yagambye nti, bba yavudde awaka ku Lwokutaano ku ssaawa 11 ez'okumakya nga waliwo omukyala eyabadde amuyise okumutwalira eby'ennyanja era agamba, olwamaze okubitikka, yazzeeyo awaka okukyusa engoye n'agezaako okumuwa emmere n'agigaana.
Yagambye nti, buli lw'abadde agenda safari, abadde amukubira essimu era bwe yali ayingira Rwanda, yakuba essimu ku Lwomukaaga n'amugamba nti, ali ku nsalo n'amusabira mukama amukulembere.
Yannyonnyodde nti, ku Lwomukaaga ku ssaawa ssatu n'ekitundu ez'ekiro yaddamu n'amukubira n'amugamba nti, ali Kabaale akomawo era yawulidde ekkanisa bakkiriza abantu 200 okusaba ayagala akubirire atuuke mu kiro kumakya asobole okukeera okugenda okusaba.
"Yangambye ekimu eky'ekkumi ky'abadde atereka Covid yenna ayagala akiweyo nemugamba mukama akukulembere n'angamba amiina, ekyo kye kigambo kya Richard kye nasembye okuwulira." Nnamwandu bwe yagambye.
Yayongeddeko nti, ku Ssande, yabadde mu kisenge essimu n'evuga yagenze okugitunulako nga bba y'akuba era yalowoozezza nti, agenda kumugamba ggulawo ggeeti nkomyewo wabula kyamuweddeko eyabadde ku ssimu bwe yamugambye nti, bbawo afudde.
"Namugambye ekyo tekisoboka n'addamu n'angamba nti, kituufu afudde nemubuuza afudde atya n'angamba nti, bagudde ku kabenje ne ddereeva bonna bafudde tewali muntu y'atuseewo." Nnamwandu bwe yayongeddeko wakati mu kukulukusa amaziga.