TOP

Amagye gajeemedde Trump ku by'okukuba Iran

Added 18th November 2020

Trump

Trump

PULEZIDENTI wa Amerika Donald Trump eyawanguddwa mu kalulu ayongedde okufuna obubonero nti obuyinza bugenda bumuva mu ngalo, bagenero bwe bawakanyizza enteekateeka ze ez'okukuba enfo ezigambibwa okubeeramu ebyokulwanyisa bya Iran ebya nukiriya.

Olupapula lw'amawulire olwa ‘The New York Times', lwategeezezza nti Pulezidenti Trump yabadde ayagala kukuba enfo za Iran ezigambibwa nti mwe muweesezebwa bbomu eza nukiriya kyokka bwe yalagidde bagenero b'oku kitebe ky'ebyokwerinda, Pentagon, okumuwa pulaani, bonna baamugambye nti kino si kye kiseera Amerika okuwakula olutalo ng'eggwanga liri wakati mu kukyusa obukulembeze ate nga tewaliiwo bulumbaganyi bukoleddwa butereevu ku Amerika.

Trump teyasoose kutegeera nti bannamagye abaduumirwa Gen. Mark Milley, bakimanyi nti bwe banaagenda mu lutalo essaawa eno, luyinza okubakaluubirira n'ebyokulayiza Pulezidenti omupya, Joe Biden ne biremagana. Trump eyeerangiridde ku Lwokubiri nti ye yawangudde okulonda kwa Pulezidenti, ali mu kuyiiya embeera enaalemesa Biden eyamuwangudde mu kalulu.

Okusinziira ku mawulire ga The New York Times mu Amerika, eggye lyakoze lipooti ey'amangu ku by'okulumba Iran ne bagisomera Trump nga bamulaga Amerika bw'etasaanidde kulumba Iran mu kadde kano. Ensisinkano eyabadde ku kitebe ky'eggye lya Amerika ekya Pentagon mu ssaza ly'e Virginia n'etamaliriza n'eddamu okutuula mu Oval offi ce mu White House, yajjidde mu kadde nga Trump yaakagoba minisita wa difensi n'abeebyokwerinda abalala n'abasikiza banfanfebe b'asuubira okukozesa mu magye.

Eyasinze okumunnyogoza ye Gen. Mark Milley eyalayidde wiiki ewedde nga bwe watajja kuba munnabyabufuzi mu Amerika akkirizibwa kukozesa magye ga ggwanga okweremeza mu buyinza. Trump byamusobedde ng'amagye gagaanyi n'atuuka n'okwebuuza ku banne omuli Mike Pence amumyuka ne minisita w'ensonga z'ebweru, Mike Pompeo nabo ne bamuwa amagezi ebyokulumba abiveeko.

Nga bagaanyi, Trump yazzeemu n'abuuza Gen. Mark Milley oba ddala kikyamu waakiri okukuba enfo emu yokka n'ekikompola kimu kiserubwatuka ekisobola okusaanyaawo enkambi yonna era naye n'addamu okugaana. Ng'ebya Biden bimutabudde eky'okubikolera, Trump yapakukidde ekitongole kya International Atomic Energy Agency (IAEA) ekinoonyereza ku mawanga agakola ebyokulwanyisa eby'amaanyi ga nukiriya kimuwe lipoota ku Iran era olwagisomye ng'eraga nti Iran ekyabiweesa mu bungi kwe kusalawo agikube.

Abamu ku baagaanyi bagamba nti Iran eyinza n'okuba terina byakulwanyisa ng'ebyo by'eweesa nga Trump ayagala kwekwasa nga Tonny Blair owa Bungereza ne George W. Bush Jr. bwe baakola mu 2003 nga balumba Saddam Hussein gwe baakissaako nti yalina bbomu z'amaanyi ga nukiriya kyokka yatuuka kuttibwa nga bbomu zaababula mu Iraq.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...