TOP

Catherine Kusasira yasimattuse ekkomera

Added 18th November 2020

Catherine Kusasira asimatuuse okusula mu kkomera, ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.

Catherine Kusasira asimatuuse okusula mu kkomera, ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi.

Oluvannyuma lw'essaawa ezisobye mu 10 nga bakunyizibwa babuuzibwa akana n'akatano  ku nsonga z'omusumba Siraje Ssemanda owa Revival Church e Bombo agambibwa okufera basumba ne bannanyini masomero ssente ezisoba mu buwumbi 4 ng'ono ye kati ali mu komera e Kitalya gye yasindikiddwa kkooti

Catherine Kusasira omuyimbi era omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Kampala ne Dr. Hilary Musoke Kisanja omukunzi w'abavubuka mu ofiisi ya Pulezidenti bayimbuddwa poliisi ku kakalu kayo akawungezi ka leero .

Kusasira ng'ali wamu ne pasita Mugisha Mondo baakedde kweyanjula mu kakiiko ka Lt. Col. Edith Nakalema akaatekebwawo Pulezidenti Museveni okulwanyisa obuli bw'enguzi n'obukenuzi

Wadde Kusasira yayimbuddwa ye pasita Mondo abasirikale bamusigazza nga bagamba bakyamunoonyerezako.

Ate ye omujaasi Robert Rwakandere nga naye akola mu ofiisi ya Pulezidenti ono bamukwasizza ab'amagye be baba bamunoonyerezako.

Muky. Nakalema ategezezza nti okwawuukanako n'abalala aboogerwako mu nsonga zino ye  Kusasira ne Musoke wadde bayitiddwa okukola sitatimenti,

tewali abalumiriza kuba nti beenyigira obutereevu mu kuggya ssente ku bantu wabula eky'ogerwako y'engeri gye bakozesamu woofiisi zabwe era okunoonyereza ku nsonga zino kugenda mu maaso kyokka kuyinza okutwala ebbanga kubanga kyetagisa n'okwogera ne bakama babwe n'abalala be kikwatako okuzuula ekituufu.

Kusasira gwe twogedde naye ku ssimu nga bakamala okumuyimbula asoose kwebaza Katonda oluvannyuma nategezezza ng'amazima mu nsonga zino bwe gagenda okweyoleka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...