
Abaserikale n'abantu nga basindika ekigoma okuva mu kkubo.
POLIISI yasuze egobagana n'abeekalakaasi e Kayunga mu kiro ekyakeesezza ku Lwokutaano. Bano nabo baabadde bawakanya ekya gavumenti okusiba Robert Kyagulanyi eyesimbyewo ku bwapulezidenti. Abatuuze tebaakombye ku mpeke ya tulo olw'amasasi bakira ageesoza ekiro kyonna nga poliisi egoba abeekalakaasi.

Ab'e Kayunga bagufudde muze okwekalakaasa mu budde bw'ekiro okuva obwegugungo lwe bwabalukawo olw'okukwatibwa kwa Kyagulanyi bwe yali akuba kampeyini e Luuka mu Busoga. Amaduuka mu bitundu ebisinga e Kayunga kati ennaku ziweze ssatu nga gasiiba maggale olw'abantu abekalakaasa.
Bbo ab'omu kibuga ky'e Kayunga okwekalakaasa bakutandika ku ssaawa 2:00 ez'ekiro ne bakeesa nga beetala. Basuula enduli z'emiti mu nguudo n'ebigoma ssaako okukumamu omuliro. Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y'e Kayunga John Lukooto agambye nti abantu abaakakwatibwa mu kwekalakaasa kuno bawera 40 era nga waliwo ne be bakyanoonya abakuma mu balala omuliro ne beekalakaasa.
Lukooto alabudde abeekalakaasa mu budde obw'ekiro bakikomye era beenenye n'okwekalakaasa okw'engeri zonna kubanga bajja kukwatibwa bavunaanibwe n'abamu okulusuulamu akaba.