TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mujjuze Gabula Ssekukkulu mwefunire eddigobe - Uhuru

Mujjuze Gabula Ssekukkulu mwefunire eddigobe - Uhuru

Added 20th November 2020

SSENTEBE wa NRM mu Kampala Central, Salim Uhuru akooowodde Bannayuganda okwetaba mu kalulu ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu basobole okuwangula eddigobe lya Kulisimaasi y’omwaka guno.

Uhuru n’akakonge ka Gabula Ssekukkulu ke yajjuzza.

Uhuru n’akakonge ka Gabula Ssekukkulu ke yajjuzza.

SSENTEBE wa NRM mu Kampala Central, Salim Uhuru akooowodde Bannayuganda okwetaba mu kalulu ka Bukedde aka Gabula Ssekukkulu basobole okuwangula eddigobe lya Kulisimaasi y'omwaka guno.

Uhuru yasinzidde ku ofi isi ye mu Kampala gye twamusanze ng'ajjuza akakonge ka Gabula akafulumira ku muko ogwokubiri buli lunaku n'agamba nti, ‘‘Omwaka oguwedde nnajjuza yadde akalulu kanneepena. Naye ku luno nkatandikiddewo nsobole okufunira ffamire yange eddigobe nga siguze ku ssente zange.'' Uhuru bwe yagambye ku Lwokuna ku makya.

Uhuru ng'era yeesimbyewo ku kifo kya mmeeya wa Kampala Central ku kkaadi ya NRM, yeebazizza nnyo Bukedde olw'engeri gy'afaayo ku muntu waabulijjo ng'ayita mu mawulire g'afulumya ate n'okuteekerateekera abasomi be nabo okwewangulira ku birabo mu nnaku enkulu naddala ez'omulundi guno nga bangi beerya nkuta olw'embeera ereeteddwaawo ekirwadde kya Corona. Yakubirizza abantu okwevaamu 1,000/- okugulanga Bukedde bamanye ebigenda mu maaso nga bwe bawangula ebyassava.

OKUWANGULA EBIRABO BYA GABULA SSEKUKKULU                                                                                                                                  Gula olupapula lwa Bukedde, ojjuzeemu erinnya lyo, ennamba y'essimu n'ekitundu gy'obeera mu kakonge akabeera ku muko guno ogwokubiri buli lunaku. Oluvannyuma kasalemu okaleete e Lugogo ku ofi isi za Bukedde (Vision Group) oba okawe abatunda amawulire ga Vision Group - etwala ne Bukedde.

Weewangulire Gabula Ssekukkulu ‘Eddigobe'. Okuwangula ku Bukedde FA MA Embuutikizi, kuba essimu buli lw'owulira oluyimba lwa ‘Merry Christmas' olwa Philly Bongole Lutaaya era omukubi owookusatu oluvannyuma lw'oluyimba olwo y'anaabanga omuwanguzi asabe by'ayagala ku Ssekukkulu, bamuwe ssente abigule.

Ku Bukedde Ttivvi, nayo bazannya oluyimba lwe lumu ng'asooka okukuba essimu y'awangula vvooca okugenda mu Mega Standard Super Market okweroboza by'ayagala ku Ssekukkulu. Ebbeeyi ya Bukedde esigadde y'emu, 1,000/- zokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Obugagga bwa Bisaka buwunii...

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu...

Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Busega.

Abawagizi ba pulezidenti Mu...

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa...

Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.

Ssegirinya wansuubiza okunf...

NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo....

Kansala Bitamiisi (ku kkono) abantu gwe baagambye nti muto.

Omwana asuuzizza maama eggaati

ABANTU bawuniikiridde bwe balabye omuwala abamu gwe baayisa omwana ng'awangudde obwakansala okukiikirira eggombolola...

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...