
Aba Redcross nga bayamba eyalumiiddwa okumutwala mu ddwaaliro e Mulago.
OMUWENDO gw'abantu abattiddwa mu kwekalakaasa ku Lwokusatu ne ku Lwokuna mu Kampala n'ebitundu by'eggwnaga ebyenjawulo gwalinnye ne gutuuka mu bantu 40. Poliisi etegeezezza nti bano battiddwa mu kwekalakaasa, n'abalala abasoba mu 80 baatuusiddwaako ebisago era bajjanjabirwa mu malwaliro ag'enjawulo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyango yagambye nti poliisi ebadde yaakafunako emirambo 30, kyokka ng'omuwendo gusuubirwa okusukka mu bantu 40. Akulira abasawo ba poliisi, Dr. Moses Byaruhanga yagambye nti, ku ggwanika lya KCCA ly'avunaanyizibwako, we bwakeredde ku Lwokuna, baabadde baakakola ku mirambo 17 kyokka kuno, kwagattiddwako emirala ebiri ku makya ne giwera 19.
Ku ggwanika ly'eddwaliro e Mulago, we zaaweredde ssaawa 7:00 waabaddeyo emirambo mwenda. Bano be baafi iridde e Mulago gye baatwaliddwa nga bali bubi. Ku ggwanika lya KCCA, abaabadde baakategeerekeka amannya kwabaddeko; Robert Lwebuga gwe baakubidde e Nansana, Onek Kansiime gwe baakubidde e Namugongo wabula ono waakuziikibwa Bushenyi.
Abalala ye Yusufu Kimuli eyabadde asoma mu yunivasite y'e Mukono nga baamukubidde Seeta, Edward Mukwaya w'e Kyengera, Fred Ssemanda w'e Nansana, Peter Kintu w'e Nansana mu Kibulooka. Abalala ye Ayub Kongola gwe baakubidde ku Old Kampala, John Kitobe gwe baakubidde ku Mabiriizi Complex, Hamuyat Nangobi gwe battidde ku Kampala Road, John Amera naye baamuttidde ku Kampala Road, Sadat Mwebesa gwe baakubidde e Bulenga ku Mwenda.
Ku baabadde mu ggwanika ly'eddwaliro kwabaddeko, Kevina Nassolo, Daniel Nahurira ow'e Kazo, Masuudi Mawejje baamukubidde Katwe ku Muganzirwazza, Juma Ssendagire omutuuze w'e Kyebando, Ibrahim Mayanja ow'e Mukono n'abalala.