
Nalwadda eyafudde.
KEVINA Nalwadda ng'abadde n'ebbaala e Nansana ku Masitoowa yakedde kugenda Kiruddu mu ddwaaliro okumujanjaba okugulu okumuluma. Yabadde yaakavaayo ng'ali mu bitundu bya Mini Price mu Kampala, mmotoka eyabaddeko ebipande bya NRM n'emutomera. Yaddusiddwa mu ddwaaliro e Mulago gye yafiiridde ku ssaawa 5:00 ez'ekiro.
