TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Ykee Benda gye yasimattuse okufiira mu kabenje

Engeri Ykee Benda gye yasimattuse okufiira mu kabenje

Added 23rd November 2020

Mmotoka Ykee Benda mwe yabadde.

Mmotoka Ykee Benda mwe yabadde.

''OLUVANNYUMA lw'okusimattuka akabenje akaabuzeeko katono okutwala obulamu bwe, omuyimbi Ykee Benda avumiridde abagoba b'emmotoka abavuga obubi naddala mu budde bw'ekiro. "Mukama wa kitiibwa, olaba nkyali mulamu n'okwogera kati nsobola ddala nnina ensonga lwaki mutendereza n'okumwebaza kuba kati ssinga ndi mufu"

Omuyimbi Ykee Benda n'ebiwundu.

YKee Benda ng'amanya ge amatuufu ye Wycliff  Tugume  okufuna akabenje yabadde agenda waka era mu mmotoka yabaddemu ne mutabani we Dante wamu ne mukyala we Julie Batenga. Agamba zaabadde  ssaawa 3:00 ez'ekiro ku Lwokutaano ng'ava ku Salaama Road okuzzaayo omu ku baana b'akola nabo asula mu kitundu kino.

Okwewala jjaamu yasazeewo ayite mu Boston e Makindye wabula aba ayita mu kitundu kino n'asisinkana mmotoka eyabadde ku sipiidi ng'etaddemu amataala agaaka ennyo agaamukosezza n'aba nga takyasobola kulaba gy'alaga ekyadiridde mmotoka kuwaba ne nnyingirira ekimu ku bikomera ebiri mu kitundu kino.

Mukama mulungi wadde nakoseddwa nnyo olw'ebisago eby'amanyi bye nafunye ku mutwe, tewali yafudde era omukyala n'abaana baavuddemu bulungi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...