TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Batongozza enkola y'okukebeza abavubuka akawuka akaleeta siriimu

Batongozza enkola y'okukebeza abavubuka akawuka akaleeta siriimu

Added 23rd November 2020

Abasawo nga balaga omusajja engeri y'okukozesaamu enkola eno.

Abasawo nga balaga omusajja engeri y'okukozesaamu enkola eno.

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu nga bali n'abakugu okuva mu kitongole kya America ekya  PEPFAR wamu ne gavumenti ya Uganda  batongozza kaweefube w'okukebeza abavubuka akawuka akaleeta siriimu mu munisipaali y'e Makindye.

Omusawo ng'ateeka akasenya omusajja kaakozesezza mu ddagala.

Mu kiseera kye kimu batongozza akuuma ke bakebeza akawuka ng'okasenyesa mu kamwa ne basobola okumanya ebikukwatako nga tebakufumise mpiso okukuggyako omusaayi.

Richard Asingwire eyakuliddemu  kaweefube ono yategeezezza nti mu kiseera kino akuuma akaleeteddwa temulimu kubafumita mpiso n'okuyiwa omusaayi okubalumya n'akubiriza abavubuka okugenda beekebeze bamanye embeera yaabwe bweyimiridde baleme kukwala n'okusiiga abalala obulwadde.

Kasim Ssekimpi, ssentebe wa LC 1 Lukuli Makindye okwekebeza kuno gyekwatandikidde yategeezezza nti abavubuka ke kaseera benyigire mu kaweefube ow'okwekebeza okusobola okulwanyisa ekirwadde kya siriimu.

Abavubuka mu Lukuli - Makindye baategeezezza nti basanyukidde kaweefube ono olw'ensonga nti oluusi empiso ezibadde zibafumitibwa zibalemesa okwekebeza nga n'olwensonga eyo baakujjumbira enteekateeka eno.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnamwandu Sharifa Nampijja ne bamulekwa.

Ani yasse mu bukambwe owa N...

OMULAALO eyabadde anoonya ente ezaabadde zimubuzeeko ye yagudde ku mulambo gwa Rogers Ssemakula mu kibira eyabula...

Poliisi n’abamu ku bakwate. Mu katono naye yakwatiddwa.

Poliisi ekutte abavubuka n'...

ABASUUBUZI mu lufula y'oku Kaleerwe balonkomye akabinja k'abavubuka akabadde n'ebissi nga kigambibwa nti kabadde...

Mayanja eyattiddwa.

Bamukutte n'omutwe gw'omwan...

OMUSAJJA eyakwatiddwa ku bigambibwa nti yasazeeko omwana omutwe abuulidde poliisi engeri omusuubuzi w'emmwaanyi...

Nambooze, Bakaluba n'abakulembeze abalala nga bajaganya olw'obuwanguzi bwa NUP obwamaanyi e Mukono.

Bakaluba Mukasa awangudde e...

Rev. Peter Bakaluba Mukasa yalangiriddwa ku buwanguzi nga ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono wakati mu mizira...

Bafaaza abazze ne ambuleera...

BAFAAZA ku Lutikko e Lubaga bacamudde abantu abeetabye mu mmisa ey'okusabira Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula,...