TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannaddiini bambalidde abeebyokwerinda olw'okutta abantu

Bannaddiini bambalidde abeebyokwerinda olw'okutta abantu

BANNADDIINI bongedde okuvumirira effujjo eryeyolese mu kunoonya akalulu ne balabula abakozesa olulimi oluyinza okwongera okusajjula embeera "olw'okukuba ku nnyama".

Bukomeko

"Abantu baffe bangi battiddwa. Abalala bali ku bitanda ne mu makomera. Abeewaanira mu kukuba ku nnyama beerabidde nti be batta balonzi be baagala okubalonda? Ani anaabalonda ng'ate abalonzi be mukuba ku nnyama?" Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga bwe yalabudde.

Gen. Elly Tumwine yayogedde ku kwekalakaasa okwabaddewo oluvannyuma lwa Bobi Wine okukwatibwa ng'ali e Luuka mu Busoga ku Lwokusatu. N'agamba: Tulagidde abaserikale okukuba ku nnyama abeekalakaasa. Okwekalakaasa okwabadde mu Kampala n'ebitundu ebirala kwafiiriddemu abantu abasoba mu 40 n'abalala baalumiziddwa bali ku bitanda. Abalala abasoba mu 300 bali mu makomera.

Mu kusaba okwabadde mu masinzizo agenjawulo ku Lwomukaaga mu Baadiventi ne ku Ssande mu makanisa n'Eklezia bannaddiini baakubirizza buli muntu okukuuma emirembe nga bagamba nti Uganda yaffe ffenna tekyetaagisa kuyiwa musaayi. Dr. Lwanga yagambye nti, "ffenna kitukakatako okukuuma emirembe ate tukuume amateeka agalambika okwewala corona kubanga kitukakatako okukuuma obulamu bw'abantu. Yennyamidde olw'abattiddwa okuli Ssaabakristu w'ekigo kya Kasaala mu Luweero eyakubiddwa essasi.

"Okukwasisa amateeka ga corona kirungi naye bannamagye mukomye okukozesa amaanyi agasukkiridde. Ate bwe muba mukwasisa amateeka muleme kusosola mu bantu ng'abamu mubaleka ate abalala mubakozesaako amaanyi agasukkiridde", bwe yagambye. Yasabye akakiiko k'ebyokulonda okuvaayo n'eddoboozi ery'amaanyi. Ebitongole by'ebyokwerinda nabyo okubaako ne kye bikolawo okulaba ng'obulamu bwa Bannayuganda buyisibwa kyenkanyi.

Gen. Elly Tumwine.

Ssentebe w'olukiiko lw'Abepisikoopi Bp. Joseph Anthony Ziwa yasinzidde mu mmisa e Kiyinda - Mityana n'ategeeza: Ekyabaddewo kibi nnyo era tekirina kuddamu kulabikako. Eggye lya UPDF lirina kubeera ly'abantu era nga libawa obukuumi, so si kukola ebyo ebyakoleddwa. "Abakuumaddembe balina okukyusa ekifaananyi eggwanga mwe libalabira. Tebalina kuddamu kutta bantu. Edda eggye lyayitibwanga Uganda Army. Erinnya ne likyuka ne lifuuka Uganda People's Defence Forces ekitegeeza eggye ly'abantu.

Bino ebyeyongera okubaawo bibi nnyo era tubivumirira kubanga tebikwatagana na linnya lya ggye ly'abantu", bwe yagambye. "Embeera eno egenda kukosa n'ekifaananyi kya Uganda ekitandise okufa mu mawanga g'ebweru. Ensi nnyingi ziyimirirawo ku byabulambuzi era bwe baatadde ekisaawe e Ntebe, baasoose kukkiriza nnyonyi zireeta balambuzi.

Kijja kuba kizibu omuntu okuva e Bulaaya okujja wano okulambula ate alabe emirambo oba omusaayi gw'abantu oguyiika", bwe yalabudde. N'asaba Bannayuganda okuyisibwa ekyekanyi. Amateeka agassibwawo akakiiko k'ebyokulonda gakwasibwe mu bwenkanya waleme kubeerawo baana na byana. Missa y'okukuza olunaku lw'essaza lya Kiyinda - Mityana yeetabiddwaako Omulabirizi wa Mityana, Rt. Rev. James Bukomeko naye eyavumiridde ebigenda mu maaso mu ggwanga.

"Kya nnaku nnyo era kyennyamiza okufiirwa abantu abangi bwe batyo mu mbeera eyo. Kitukosa wano n'ebweru. Tusaba embeera eyo ey'okuwalaggana n'okusosola mu byobufuzi ereme kuddamu kulabikako", bwe yalabudde. Ku Lwomukaaga, Omusumba w'Abadiventi, Samuel Kajoba naye yavumiridde ettemu eryabaddewo n'agamba nti obulamu bw'omuntu kya muwendo munene ogutateekwa kufiira mu kalulu.

Ssaabalabirizi Dr. Stephen Kazimba Mugalu yategeezezza nti naye kata alugenderemu naye endabika y'emmotoka ye n'emutaasa. "Ku luguudo lwa Namirembe, abavubuka baali bangi nga beekalakaasa nga bayimiriza buli mmotoka eyitawo. Eyange eriko ebigyogerako ebyavuddeko abavubuka okunsonyiwa", bwe yagambye mu kkanisa ya St. Andrew's Bukoto.

N'asaba abantu bonna n'ebitongole by'ebyokwerinda okufaayo okumanya nti bye bakola bandiwulidde batya ssinga bikoleddwa ku bo? Ne yennyamira nti okumanya effujjo terigasa lyatwaliddemu n'abaabadde mu ngoye za langi zaabwe omuli n'abazambala nga tebafuddeeyo ku byabufuzi, beeyambalira kunyuma.

Abo bonna baakoseddwa. Kibi nnyo. "Omukyala omukulu yabadde atambula mu kibuga ng'ayambadde akagoye ka kyenvu abavubuka ne bamulagira akaggyemu. Kyannenyamizza nnyo okumulaba ng'alinga asigadde obwereere. Nsaba ebikolwa bino bireme kukomawo kuba byatutte obulamu bw'abantu bangi." Bwe yannyonnyodde.

Yavumiridde abaserikale n'avumirira abaggadde amakubo n'okwonoona ebintu ky'agamba nti kifiirizza eggwanga n'awa ekyokulabirako nti enguudo ezaayonooneddwa zirina okuddamu okukolebwa so nga ssente zandibadde zissibwa ku birala.

Fr. Mayanja eyakulidde mmisa e Lubaga yasabye okuyimbula abaakwatiddwa. N'agamba nti "tutandise okweraliikirira oba tunaafuna okulonda okulungi kubanga twasooka kubiraba mu kamyufu."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....