TOP

Faaza awadde Kyagulanyi ebyokulwanyisa

Added 23rd November 2020

Fr. Mayanja bwe yabadde akwasa Kyagulanyi Sappule oluvannyuma lw’okusaba. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Fr. Mayanja bwe yabadde akwasa Kyagulanyi Sappule oluvannyuma lw’okusaba. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

BWANAMUKULU w'e Lubaga Fr. Achilles Mayanja akwasizza Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) kye yayise ebyokulwanyisa by'anaakozesa mu kuyigga akalulu. "Nkukwasa ebyokulwanyisa. Ssi bya kutta bantu, naye bya mwoyo. Ekifaananyi kya Yezu Owoobusaasizi nkikukwasa okitimbe mu ddiiro lyo. Buli ku makya mugambe nti Yezu nkusaba onsaasire era onkulembere mu lugendo lwange," Fr. Mayanja bwe yategeezezza mu Mmisa e Lubaga eggulo.

Bobi yabadde ne mukyala we Barbie n'abaana baabwe Solomon Kampala ne Sharaq Mbogo. Mmisa yeetabiddwaamu Dr. Kawanga Semogerere ne mukyala we. Fr. Mayanja era yamwongedde ebifaananyi bibiri ebya Biikira Maria Owenneema n'amusabira amuwe obuvumu okuyita mu buli mbeera atuuke ku buwanguzi. Yamugattiddeko Sappule n'agamba: "Sappule zino ziweereddwa omukisa. Bw'oba ogenda okuwenja akalulu zambale. Endala osobola okuzissa mu nsawo z'engoye z'oyambadde. Ojja kubeera munywevu."

Fr. Mayanja yavumiridde kye yayise effujjo erikolebwa abeebyokwerinda naddala ku Kyagulanyi ne Patrick Oboi Amuriat. Kyagulanyi yasaasidde abattiddwa mu kwekalakaasa n'agamba: tukungubaga olwa bannaffe abatuvudde ku maaso nga bakubibwa amasasi abantu abalina okubakuuma.

Tulina okutya olw'abantu abeeyongera okufa ate nga bangi bali mu malwaliro n'amakomera. N'agamba nti bwe yabadde mu kkomera e Nalufenya yasiriikiridde, ebintu bingi ne bimujjira. "Nnafumiitirizza nga bye tulaba tebitandise kati. Ssekabaka Mwanga yalagira okutta abajulizi mu 1886 ng'alowooza wamaanyi kyokka n'okutuusa kati abajulizi bazira.

Amin yatta Fr. Clement Kiggundu ng'omusango ogumuvunaanibwa kwogera ku kutyoboola ddembe ly'obuntu. "Bayibuli eraga Kabaka ow'amaanyi Nabukaduneza. Kyokka abavubuka Messach, Abidinego ne Sadrack baamuwangula. Daudi naye yawangula Goliyasi eyali ow'amaanyi lwa kwesiga Katonda. Naffe tulina kwesiga Katonda kubanga ayimirira n'abo abamwesiga," bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...