TOP

Ttiyaggaasi anyooka e Kyegeegwa ewa Bobi Wine

Added 23rd November 2020

Ttiyaggaasi ng'anyooka.

Ttiyaggaasi ng'anyooka.

Pulezidenti w'ekibiina kya NUP, okunoonya akalulu e Kyenjojo, Kyegegwa ne Fort Portal tekunnaba kumutambulira bulungi ng'ebitundu ebirala. Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobo Wine yaweerezza obubaka nti ekiro ekyakeesezza ku Mmande, poliisi yasuze ekwata abantu be abaabadde bakola ku nteekateeka z'enkung'aana ze. 

 Ate bw'atuuse e Kyegeegwa bamugaanyi okuyita mu kibuga wakati poliisi n'emulagirira ebbali gy'ayise okutuuka ku kisaawe. Ategeezezza abawagizi be nti essuubi ly'abadde alina okubawa obubaka bw'enkyukakyuka poliisi eririnnyemu kubanga bamulemesezza okwogera eri abantu. 

Baasimbudde e Kyegeegwa okudda e Kyenjojo olwo poliisi n'emuteekako kabangali bbiri eziriko abaserikale abambadde ebyambalo ebiddugavu nga zimuwondera nga kwe batadde n'okukuba omukka ogubalagala mu bawagizi be. 

Kuno bamutaddeko n'akamotoka akaliko akaduukulu mwe baamuteeka nga bamukwata okuva e Luuka okumutwala e Nalufenya wiiki ewedde ye ky'agamba nti bino byonna babikola kumutiisatiisa n'okumulemesa okutuuka ku bantu kyokka agamba nti tajja kupowa. Olwaleero olukung'aana olusembayo alina kulukuba Fort Portal.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...