TOP

Looya Kityo ne mukazi we bafudde lumu

Added 23rd November 2020

Looya Kityo.

Looya Kityo.

MUNNAMATEEKA w'Ekika ky'Ekkobe bamubikidde mukyalawe nti afudde naye n'akutuka. John Fredrick Kityo, eyatandikawo kkampuni ya bannamateeka ( Kityo & Co. Advocates) gwe baabikidde mukyala we, Susan Nakkungu Kityo, eyabadde atwaliddwa mu ddwaaliro e Mengo, ng'atawaanyibwa ekirwadde kya ssukaali.

Msgr. Semusu (ku ddyo), ne Fr.Sebukoola (amuddiride), mu kuziika.

Mutabani we, Denis Nsereko, nga naye looya mu kkampuni y'emu, olwatuuse awaka e Wakaliga mu zooni B n'amubikira okufa kw'omukyala. Nsereko yalese kitaawe atudde mu ddiiro, n'agendako mu kisenge kyokka yagenze okudda nga naye afudde!

Amawulire gano geewuunyisizza abooluganda n'emikwano abaawulidde amawulire g'okufa kw'abaagalana bano, era bakira beewuunya omukwano gwa Kityo gw'abadde alina ewa mukyala we. Bakityo obufumbo babadde babumazeemu emyaka etaano nga balina abaana basatu.

Nakkungu.

ABADDE YAAKAFIIRWA MUKYALA WE OMUKULU                                                                                                                                 Gilbert Ssekkonge, omu ku batabani b'omugenzi, agamba nti kitaabwe abadde tali mu mbeera nnungi kuba wiiki bbiri emabega abadde yaakafiirwa mukyala we omukulu, Rose Nalyaaka. Yagasseeko nti Kityo abadde atawaanyizibwa obulwadde bwa puleesa nga ku Lwokutaano bwamutuusaako ne ku kitanda e Mulago nga Nakkungu yamujjanjaba.

Yannyonnyodde nti Kityo olwasiibuddwa, ku lunaku lwennyini obulwadde ne bubakira Nakkungu ne bamuddusa e Mengo gye yamaze ekiro kimu n'afa. Nsereko yategeezezza nti kitaawe puleesa yali yamuwaliriza okulekulira omulimu ng'ensonga azikwasaganyiza ku ssimu.

Amyuka Ssebwana wa Busiro, Vincent Kayongo, mukwano gw'omugenzi yategeezezza nti Kityo abadde wamazima n'obwenkanya ng'abadde asinga kulwanirira bantu abatawanyizibwa ku ttaka. Rev Fr. Edward Ssebukoola ow'ekigo ky'e Nakawuka ye yakulembeddemu ekitambiro kye Mmisa nga yeegattiddwaako Msgr. Lawrance Ssemusu mukwano gw'omugenzi.

Okubulira kwe yakwesigamizza kusonyiwa ababeera bafudde. Semusu yagambye nti abantu babeera munsi ne beerabira okuleeka omukululo n'asaba abakungubazi okwebuuza kiki kye banabajjukirako nga bavuddewo. Ku ssaawa 9:00 ez'olweggulo abagenzi baaziikiddwa mu ntaana emu eyabadde eyawuddwamu emirundi ebiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’atongoza ekitabo OMUGANDA KIKA. Akutte ekitabo ye Kyewalabye Male.

Katikkiro akunze Abaganda o...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubiriza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

Anite (ku ddyo) ng’atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono. Mu katono ye Nakiguli eyattiddwa.

Eyatemudde mukwano gwe n'am...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganzi we mu bizinga by’e...

Halima Namakula.

Halimah Namakula awakanyizz...

Omuyimbi Halimah Namakula si mumativu n'ebyavudde mu kulonda omubaka akiikirira abakadde b'omu Buganda n'alumiriza...

Philly Bongoley Lutaaya eyasooka okwerangirira mu Uganda nga bwalina siriimu.

▶️ Omututumufu ku Bukedde F...

Omututumufu;Leero tukuleetedde Uganda by'etuuseeko mu myaka 35 gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy'emaze mu buyinza...

Everest Kayondo

▶️ Mu byobusuubuzi ku Buked...

Mulimu Ssentebe w'abasuubuzi Everest Kayondo ng'asaba okubaawo enteeseganya wakati w'abasuubuzi ne bannannyini...