TOP
  • Home
  • Amawulire
  • AKAKIIKO K'EDDEMBE LY'OBUNTU KAVUMIRIDDE EFFUJJO N'OKUTTA ABANTU MU KWEKALAKAASA

AKAKIIKO K'EDDEMBE LY'OBUNTU KAVUMIRIDDE EFFUJJO N'OKUTTA ABANTU MU KWEKALAKAASA

Added 23rd November 2020

Dr. Katebalirwe Amooti.

Dr. Katebalirwe Amooti.

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kavumiridde ebikolwa by'okutyoboola eddembe ly'obuntu ebyetobese mu kwegugunga okwabaddewo wiiki ewedde, poliisi bwe yakutte Robert Kyagulanyi Ssentamu eyesimbyewo ku bwapulezidenti.

Akola nga ssentebe w'akakiiko kano, Dr. Katebalirwe Amooti wa Irumba mu lukiiko lwa Bannamawulire lwatuuzizza ku kitebe ky'akakiiko kano ku Twed Plaza mu Kampala n'avumirira ebikolwa by'okutyoboola eddembe ly'obuntu ebyalabikidde mu kwegugunga kuno.

Anokoddeyo okutta abantu okwakoleddwa abamu ku bakuumaddembe, okwonoona bizinensi z'abantu n'ebyobugagga byabwe, okukuma ebipiira mu nguudo n'okuteekamu emisanvu ekyalemesezza abantu eddembe lyabwe ery'okutambula n'ebikolwa ebirala ebyakoleddwa abeekalakaasi. Wano wasinzidde n'asaba ebitongole ebikuumaddembe okunoonyereza obulungi ku byabaddewo, abantu ababyenyigiddemu bakangavvulwe.

Abaserikale abasse abantu nabo asabye bagololwe ettumba kubanga wadde embeera yabadde nzibu naye baabadde basobola okugikkakkanya nga bayita mu mateeka ng'ennyingo ya Ssemateeka eya 221 bwebalagira.

Asabye Bannabyabufuzi okusomesa abantu baabwe ku ngeri gye bayinza okulaga obutali bumativu mu mirembe nga tebayonoonye bintu, n'awa ekyokulabirako ky'abantu abaabadde bakuba emmotoka za gavumenti n'abazibaddemu, baagambye nti olumu besanga nga bakuba abantu abali mu kubalwanirira okugeza Abalamuzi, ab'akakiiko k'eddembe ly'obuntu n'abalala.

Era akubirizza abantu bonna omuli abakungu ba Gavumenti, Bannabyabufuzi n'abantu ba bulijjo okulekeraawo okukozesa olulimi oluleeta obusungu n'obukyayi mu bantu. Awadde eky'okulabirako ky'ebyayogeddwa Minisita w'obutebenkevu Elly Tumwine, nti poliisi erina obuyinza okukuba ab'ekalakaasi amasasi ne battibwa ssinga babeera bayitirizza effujjo, kyagambye nti bo ng'akakiiko tebasobola kukiwagira.

Agambye mu kiseera kino akakiiko kali mu kunoonyereza okulaba abantu abaakoseddwa n'abo abali mu makomera nga bafuna obwenkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....