TOP

Walukagga bamugguddeko emisango ebiri

Added 23rd November 2020

POLIISI eggudde emisango ebiri ku Mathias Walukagga omuli okukozesa erinnya lye okukunga abantu okwekalakasa ku Lwokusatu ebintu n'obulamu bw'abantu ne bufa n'okukeera ku kkomera e Nalufeenya n'akunga abo mu Busoga bekalakaase.

Walukagga ng'essaawa eno ali ku kitebe kya poliisi ekya Crimes Department e Naguru gy'ali mu kukunyizibwa yategeezezza nti mu kwekalakasa okwamukwasizza, teyakwetabaamu wabula yasanga abayaaye e Kyengera ne bamulemesa okuyitawo okugyako ng'asoose kulaga buwagizi bwa Bobi Wine eyali akwatiddwa olw'okukuba olukungana olusukka abantu 200 abakkirizibwa mu mateega ga minisitule y'ebyobulamu okwewala COVID-19.

Olukungana lwaki Luuka mu Busoga ku Lwokusatu ekyavaako abantu okwekalakaasa mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo.

Poliisi yalaze Walukagga akatambi kkamera zaayo ku kkubo ke zaakwata ng'ali n'abavubuka b'elumiriza nti yeyabakunga wabula n'ategeeza nti yali n'ebbiina ly'abavubuka nga tayinza kubaviira nga tasoose kubeera nabo ate nga n'obuwagizi eri Bobi Wine yasooka kubulaga ne balyoka bamuyimbula.

Poliisi erumiriza nti yassa ssente mu ba bodaboda ne bagula amafuta bekalakaase.

Walukagga yesimbyewo ku kifo kya meeya wa Kyengera town council

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maj.Bilal Katamba

Bannakampala mukomewo mukol...

AMAGYE gagumizza abantu abakolera mu Kampala nti tewali ajja kutabangula mirembe wadde bizinensi zaabwe noolwekyo...

Maama Kisanja (wakati) ne banne.

Maama Kisanja yawangudde ek...

OKULONDA omukadde agenda okukiikirira abakadde mu lukiiko lw'eggwanga olukulu kuwedde e Luweero era nga Maama Kisanja...

Nancy Kalembe omukazi yekka eyeesimbewo ku bwapulezidenti.

'Sikkaanya na byavudde mu k...

EYABADDE avuganya ku bwa pulezidenti Nancy Linda Kalembe agambye nti si mumativu n'ebyo akakiiko k'ebyokulonda...

Senyomo

Ono akalulu akanoonyeza nju...

Deus Senyomo eyeesimbyewo ku bwannamunigina okuvuganya ku kifo kya kansala mu KCCA ( LC V) mu miruka gya;  Lubaga...

Abamu ku b’eng’anda z’abaafudde nga baaziirana.

Omusajja asse omukazi n'aba...

DOREEN Namutebi 32, afudde alaajana mu muliro ogumusse n'abaana bana e Katooke-Nansana. Moses Ssebadduka nga ye...