
MOHAMMED Ssegirinya bamuyimbidde mu kkomera e Nalufeenya gy'amaze ennaku mukaaga bwe yakwatibwa ng'awa amawlire g'okukwatibwa kwa Bobi Wine poliisi ge yagamba nti yali agasavuwaza nti omukwate yali atulugunyizibwa mu kaduukulu.
Enkya ya leero, Ssegirinya atwaliddwa mu kkiooti e Iganga n'ayimbulwa.
Abaserikale baasigazza amasimuge ge nga bagamba nti ge yali akozesa okusaasaanya amawulire ag'obulimba agaali gagendereddwamu okusiga obukyayi mu bantu n'okuleetawo obujagalalo.
Ssegirinya yayimbuddwa oluvanyuma lwa balooya ba NUP okwabadde Nkunyinyi Muwada ne Shamim Malende okulaga kkooti nti omuwaawaabirwa ajja kujjanga mu kkooti okweyanjula ne ku poliisi bwe banaabanga bamuyise.
Yayimbiddwa ng'ali mu lugabire n'abuuza engattoze ziri na kati akyazisaba ng'agamba nti tamanyi lwaki baazisigazza.
Ssegirinya yakwatibwa ku Lwokusatu oluvanyuma lwa Bobi Wine okukwatibwa mu lukungana lwe yali akubye e Luuka mu Busoga nga bamulanga kukunganya bantu basukka 200 abakkirizibwa mu mateeka ga minisitule y'ebyobulamu aga COVID-19. Ng'atwaliddwa e Nalufeenya, Ssegirinya yasigala bweru wa kkomera ng'awa ‘UPDATES' ebigenda mu maaso ku nkwata ya Bobi era poliisi yamusanga wabweru wa kkomera n'emuyoola.
Nabilla Naggayi Ssempala naye eyakwatibwa enkeera ku Lwokuna nga Bobi Wine ng'alaga obutali bumativu wabula tanayimbulwa.
Muwada eyayogedde ku lwa Ssegirinya eyategeezezza nti yabadde teyewulira bulungi yategeezezza nti omuntu we gw'awolereza munafu olw'ebyamutuukako mu kkomera by'ajja okunyonyola ng'amaze okulaba omusawo n'afuna amaanyi.