TOP

'Alina pulaani ku nguudo gwe tujja okulonda'

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu bye baagala abeesimbyewo babakolere nga batuuse mu ofiisi. Okunoonyereza kuno kwakolebwa okwetooloola eggwanga.

Nancy Kalembe avuganya ku bwapulezidenti ng'ayita ku Cathedral Avenue mu Mbale.

Olwaleero tutunuulidde ekizibu ky'enguudo eziri mu mbeera embi, zijjudde ebinnya kyokka ezikoleddwa bagamba nti nfunda ekiviirako ‘jjaamu', okwongeza ebisale byentambula. Ng'oggyeeko ebyobulamu ebiri mu mbeera enzibu, obwavu n'ebyenjigiriza, okunoonyereza kuno kwazudde nti ekizibu ky'enguudo embi kikwata ekifo kyakuna mu bizibu ebiruma Bannayuganda bye baagala babakolereko.

Okuva mu bitundu bya Buganda, obuvanjuba n'obugwanjuba wamu n'Obukiikakkono bwa Uganda abantu bonna bakaaba enguudo embi ezitalina kolaasi, ebinnya, nfunda ekiviirako obubenje okugwawo olutata ne kiviirako abantu okufiirwa obulamu.

EBIRI MU LIPOOTI:                                                                                                                                                                                           Ebitundu ebyatunuuliddwa kuliko Buganda, Buvanjuba, Bugwanjuba n'Obukiikakkono. Okunoonyereza kulaga nti enguudo z'omu bitundu bya Buganda ze zisinga okubeeramu ebinnya ate ebitundu ebirala byonna awaali kolaasi kati enguudo zonna za binnya.

Oluguudo oluva e Bulamaji okudda e Nyenga bwe lulabika.

Ebitundu bya Buganda n'obugwanjuba embeera y'obudde ekosezza nnyo enguudo enkuba bw'etonnya zanjaalamu amazzi n'amataba ne gasalako ezimu ate omusana bwe gwaka enfuufu n'etikkuka n'ebuutikira wonna. Ababeera ku mulimu gw'okuddaabiriza enguudo bagamba nti bataataaganyizibwa abantu abazikozesa, nfunda nnyo ekiviirako ebidduka okulippagana ne bigootaanya entambuza y'emirimu. Ebitundu by'obukiikakkono enguudo nnyingi tezirina kkolaasi, ezaalimu koolaasi awomoggose kati zonna binnya.

BUIKWE BEEKALAKAASIZZA LWA LUGUUDO                                                                                                                                          Olwokubiri lwa wiiki eno abantu b'e Lugazi 2 ne Bulumaji beegattiddwaako abantu abakozesa oluguudo oluva e Njeru okudda e Nyenga ne beekalakaasa nga baziba oluguudo nga bagamba nti luli mu mbeera mbi kyokka tebafuddeeyo kulubakolerako.

Moses Lukanga Musanje yategeezezza ng'oluguudo luno bwe luli olw'amaanyi luliko amakolero n'ekigo kya Klezia eky'e Nyenga, eddwaaliro lya St. Francis Hospital Nyenga abantu b'ekitundu we bafuna obujjanjabi nga balina kukozesa kkubo lino eritakyayitikamu.

Abatuuze bategeezezza ng'oluguudo luno bwe luyitako ebyamaguzi lwe lugatta Jinja Road ku Mukono Katosi-Nyenga Road kyokka lulimu ebinnya n'ebiwonko enkuba bw'etonnya ebidduka tebiyita. Aziz Junju yategeezezza nti oluguudo luno abakozi ba gavumenti abakolera ku kitebe e Buikwe lwe bakozesa era lwe lugenda ku mbuga ya Ssaabasajja Kabaka ey'e Nyenga. Samson Musoke ategeezezza nga bwe bagezezzaako okutuukirira abakulembeze baabwe babakolere ku luguudo luno wabula abakulembeze basusse okubalimba nga bwe bagenda okulukola.

MASAKA October 8, 2020 minisita w'emirimu n'entambula Gen. Katumba Wamala yasinzidde mu Nyendo e Masaka n'atongoza okukola oluguudo lwa Nyendo - Kijjabwemi oluwomoggose era lukosezza nnyo emirimu mu kitundu kya Nyendo. Newankubadde Gen. Katumba yatongozza okukola oluguudo luno, okutuusa olwaleero omulimu tegunnaba kutandika. Bwe yabadde alutongoza yategeezezza nti lugenda kukolebwa ku mutindo gwa nsi yonna.

Ying. Alfred Ogik okuva mu kitongole ky'ebyenguudo ekya UNRA yategeezezza nti oluguudo luno luliko kkiromita 5 nga balugatta ku lw'e Bukakkata oluli mu kukolebwa era omulimu gwakuwemmenta obuwumbi 39. Daniel Kagiri: Nze emmotoka yange gye buvuddeko yafiira mu kkubo eriva mu Nyendo okudda e Masaka mu katundu ka Nakayiba oluvannyuma lw'okugwa mu kinnya.

Abantu bangi bafiirwa ebidduka byabwe era ssente nnyingi ezoonoonekera mu kukanika naddala aba bodaboda ekikosa enfuna yaabwe. Tetusobola kukomya kwemulugunya newankubadde aba UNRA bajja ne batongoza okukola oluguudo luno okutuusa nga lukoleddwa kubanga tetunnalaba kintu kyonna kigenda mu maaso, embeera enzibu gye tubadde tuyitamu ebbanga lyonna era tukyagiyitamu tusaba abaakwasibwa kontulakiti y'okukola oluguudo luno okwongeramu amaanyi naddala engeri gye twafuuse City.

Mu bitundu ebiri emabbali g'ekibuga amakubo gakyali mu mbeera mbi nnyo era abategekera ekibuga balina okussa essira ku bitundu ebipya ebyegasse ku kibuga okusobozesa abantu okutambuza emirimu gyabwe. Aloysious Sserubiri: Enguudo kukyali kusoomooza kunene naddala mu bitundu bya Nyendo n'ebyo ebyeyunze ku kibuga Masaka.

Oluguudo lwa Nyendo-Masaka kye kizibu ekinene ekisinze okuzza Masaka emabega. Nze nnina bizinensi ku luguudo luno kyokka embeera mwe luli etukosezza nnyo. Abantu kati beeyambisa nnyo oluguudo olunene oludda e Mbarara okuva mu Nyendo okudda mu kibuga Masaka.

Twebaza ababaka b'ekibuga Masaka okulwanirira okukola oluguudo luno naye tusaba abakwasibwa kontulakiti y'oluguudo banguyeeko kubanga ebbanga ddene lye tubonyebonye era ekiseera kituuse naffe tubeeko kye tuganyulwa mu gavumenti. Tetusobola kukulaakulanya kitundu kyaffe ng'amakubo tegakoleddwaako.

MBALE: Nancy Kalembe avuganya ku bwapulezidenti bwe yabadde e Mbale, ku Lwokubiri abaayo baamusabye bw'awangula abataase ku nsonga embi. Kalembe yabagambye nti ayagala bonna beekolerere okusinga okubawa. Kalembe baamulinze ku Cathedral Road we baayimirizza emmotoka ye mu kitaba oluvannyuma ne bamuloopera enguudo embi nga Naboa road, Manafa Road, Garage Road nti tezituukana na mutindo gwa City y'e Mbale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...