TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENSULO LIMPADDE OBUGAGGA

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENSULO LIMPADDE OBUGAGGA

Added 23rd November 2020

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa okulima ebbanga lyonna. Mugagga mulimi wa mmwaanyi n'ebitooke.

Mugagga mu mmwaanyi n'ebitooke bye.

Ye nnannyini ffaamu eyitibwa Mugagga esangibwa ku kyalo Busakya - Gombe mu disitulikiti ye Wakiso. Ffaamu etudde ku yiika 10 ng'alima emmwaanyi za Elite kati emyaka musanvu nga kye kirime ekimuwa ensimbi.

NTANDIKA OKULIMA EMMWAANYI                                                                                                                                                          Okulima nakuyigira waka kubanga tukuze tuli balimi ba mmwaanyi n'ebitooke era nga tulunda. Bwe nafuna ettaka okuli ensulo namanya nti ndi ku kyabugagga . Natandikirawo okugula emmwaanyi ne nsimba 10ft x10 ft. Oluvannyuma nayongeramu ebitooke wakati nga byonna nkungula.

PULOJEKITI ZIKWATAGANA                                                                                                                                                                             Nkozesa kalimbwe n'obukuta obuvudde mu nkoko okugimusa ettaka kubanga liyitamu amazzi nga lyetaaga okuliikiriza obugimu buleme okuggwaamu. Obukuta obukubiddwa ku mmwaanyi mbukozesa mu kiyumba ky'enkoko.

Mugagga ng'abuuka ogumu ku myala oguli mu nnimiro ogutambuza amazzi.

TEKINOLOGIYA GWE NKOZESA                                                                                                                                                                          Mu nnimiro yange nnina amazzi ag'omwala olwo nze ntema emikutu egigatambuza. Mu nnimiro nteekamu embibiro ezigatambuza okugatwala mu kitundu ky'ennimiiro we njagadde gatuuke. Bwe mbeera njagala okugakendeeza ng'atega ebikutiya ebirimu ettaka okugasiba galeme okutambula.

NKOLA NE MUWALA WANGE.                                                                                                                                                                           Mugagga agamba nti ffaamu eno agibeerako ne muwala we naddala mu luwummula. "Muwala wange Mugagga ali mu S6 nga asobola bulungi okubaako by'akola ku ffaamu okugeza okusalira ebitooke, okubikka olusuku n'okunoga emmwaanyi. Mu luwummula ne bwemba siri waka asobola okutambuza bulungi emirimu gyonna egikolebwa ku ffaamu nga bw'alabirira abakozi.

ABAKOZI:                                                                                                                                                                                                                     Ffaamu erina abakozi 16 nga mukaaga baasigala ku ffaamu Busakya ate abalala nabatwala ku ffaamu ya Mwereerwe awali pulojekiti endala. Ng'oggyeeko okubasasula omusaala oguli wakati wa 100,000/- ne 200,000/- omwezi, mbasuza, mbaliisa era mbawa ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo.

ABANTU KYE BAGANYUDDWAAMU:                                                                                                                                                        Nayingira mu Matugga ne ntandika okulima emmwaamyi ng'abantu balowooza nti tezibala ku ttaka lino. Kyokka bagenda okulaba nga zikula bulungi nga nnoga ne nzitunda. Era abantu bangi abandabiddeko ne batandika okuzirima mu bungi. Abalala nze mbagabira endokwa z'okusimba nga bazikima ku ffaamu yange.

KUKUUMA EBITABO:                                                                                                                                                                                       Mbala buli kalonda yenna ayingira n'afuluma ku ffaamu nga bwe mbiteeka mu buwandiike ekinnyamba obutafi irizibwa. Ntandikira ddala ku muntu asaggudde ekisambu, okugula endokwa, okusimba, okusaawamu omuddo okutuusa okukungula.

ENTEEKATEEKA EZIJJA:                                                                                                                                                                              Mugagga alina enteekateeka z'okuzimba ekyuma ekisunsula emmwaanyi nga atunda kase. "Njagala ffaamu yange efuuke kyabulambuzi mu kitundu ng'abantu gye bayigira ebikwata ku mmwaanyi mu Wakiso."

KYE YEENYUMIRIRIZAAMU:                                                                                                                                                                                 Y'omu ku balimi abayogerera ebbago ly'emmwaanyi mu gavumenti. Bamwogeddeko ng'omukyala asoose okulondebwa okwogerera emmwaanyi za gavumenti. Mugagga yagambye nti akola ssente ekiseera kyonna. "Nasimba emmwaanyi ne nzitabiikirizaamu ebitooke nga nkungula byombi ku ttaka limu. Ate enva endiirwa nzirima ekiseera kyonna kubanga amazzi ngalina mu bungi nga n'omusana bwe guba gwaka tegakalira. Enva zino ziyamba okuyingiza ssente eza buli kiseera."

OKUGANYULA EKITUNDU:                                                                                                                                                                                Nasanga abalimi ku kyalo kino nga tebasimba mmwaanyi era nga bakimanyi nti tezibala. Era nazisimba bankeneka kyokka kati ffaamu ebasanyusa mu kitundu. 1 Bangi naddala abali mu kitundu abajja okusomerako engeri gye basimba n'endabirira y'emmwaanyi. 2 Abamu mbagabidde endokwa z'emmwaanyi ne bazisimba era ndi musanyufu nti obulimi bw'emmwaanyi mbugaziyizza mu kitundu.

OKWEYONGERAKO: Nneeyunira emisomo egikwata ku byobulimi n'obulunzi kubanga njagala okwongera okuyiga naddala tekinologiya ali ku mulembe. Emmwaanyi nazo abakugu bagenze bazinoonyerezaako era zizze zikyusibwamu mu mitendera nga tufuna ebika eby'enjawulo omuli ezikula amangu era kinnyambye okutegeera ebizikwatako. BYE NSUUBIRA OKUKOLA  Nsuubira okuzzaawo pulojekiti yange ey'okulunda ebyennyanja gye nalina. Waasigala bidiba ebijjudde amazzi oluvannyuma lw'okufuna obuzibu nga bantuusaako obulabe.  Ntandiseewo pulojekiti y'okulunda embizzi mu nkola ey'omulembe. Eno njagala ebeere kyabulambuzi.

OKUSOOMOOZEBWA: Ekibbattaka kifuuse ekizibu mu kitundu nga nange kyali kyantwaliramu era mmaze ebbanga lya myaka 10 mu kkooti nga ngezaako okulwanirira ettaka lyange okutuusa lwe nawangudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...