TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nabbi Omukazi ayagala ABS TV emuliyirire obukadde 700

Nabbi Omukazi ayagala ABS TV emuliyirire obukadde 700

Added 23rd November 2020

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango nga tabawadde lukusa. Kayima mu bbaluwa gy'awandiikidde aba ABS TV ng'ayita mu Bannamateeka ba Nalukoola, Kateeto Advocates & Solicitors aba ABS gye bafunye mw'ayisizza ebiragiro bino.

Pasita Jengo.

Agamba nti y'omu ku bantu abaaleeta ekirowoozo okutandika ABS TV ng'ali n'Omugenzi Pasita Augustine Yiga. Yakola akalango ‘Oli mu kulaba Television ya ABS Ekuwummuza ebirowoozo'. Okuva TV lwe yatandika babadde bakozesa eddoboozi  lye nga tebamusasudde, ng'ate tabawanga lukusa kulikozesa era tebamwogerako ng'omuntu eyakola akalango ako.

Wano waasinzidde n'abalagira bakomye mbagirawo okukozesa akalango kano kuba tebalina lukusa wamu n'okumusasula obukadde 600 nga baziyisa mu Bannamateeka be. Okwo ayagala bongereko endala obukadde 100 okumuliyirira okufiirizibwa kw'atuusiddwako nga bakozesa bye yayiiya n'okusasula eza bannamateeka obukadde 30.

Abalagidde ekiragiro kino bakituukirize mu nnaku nnya zokka okuva lwe baafunye ebbaluwa eno ku Mmande. Nabbi Omukazi yakolanga n'Omugenzi Pasita Yiga ng'era yaliko mukyala we ne baawukana kyokka bwe yafudde yakomyewo ne yeetonda.  Okusinziira ku kiraamo Yiga kye yaleka, obuvunaanyizibwa bw'okulabirira Tv buli mu mikono gya Andrew Jengo mutabani wa Yiga omukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...