TOP

Bannayuganda mukolerere emirembe

Added 23rd November 2020

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa n’abakuumaddembe amagezi okukendeeza okukozesa eryanyi eriyitiridde ku bantu.

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n'awa n'abakuumaddembe amagezi okukendeeza okukozesa eryanyi eriyitiridde ku bantu.

Omugenzi Fr. Lumanyika.

Bino yabyogeredde ku Lutikko e Lubaga mu kuziika  Rev. Fr. Joseph Lumanyika  Nsubuga abadde omulung'amya w'eby'eddiini ku ssomero lya St. Augustine College Wakiso. Dr. Lwanga asabye bannabyabufuzi  okukomya okukozesa ebigambo ebisiga obukyayi mu bantu wabula bababuulire ebyo bye bagenda okubakolera kwe baba basinziira okubalonda.

Abamu ku bantu abeetabye mu kuziika Fr. Lumanyika e Lubaga ku Mmande.

Alabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa Covid-19 n'abasaba okugoberera ebiragiro bya minisitule y'eby'obulamu era n'asaba abavubuka okukomya okukozesa olulimi olusiga  obukyayi n'okwenyigira mu bikolwa eby'effujjo. Fr. Lumanyika yafa ku Lwakutaano obulwadde bw'omutima nga Ssaabasumba amwogeddeko ng'abadde ayagala ennyo Katonda, eddiini, omwetoowaze, omukkakkamu era omugabi. 

Ssaabasumba Lwanga ng'asabira Fr. Lumanyika.

OBUWEEREZA BWE                                                                                                                                                                                                    Yafuna obudyankoni mu  1992 nga bwamuweebwa Kalidinaali Emmanuel Wamala ate mu 1993 yamuwa obusasorodooti. Aweerezza mu bigo eby'enjawulo okuli: Nsambya, Kikyusa, yakulirako ekitongole ky'abavubuka eky'essaaza nga waafiiridde nga yemulung'amya w'abayizi ku ssomero lya St.Augustine College  Wakiso. (Ebif. Bya Ponsiano Nsimbi).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...