
Wano yabadde mu kkooti e Iganga.
WE bukeeredde olwaleero ng'enguudo zonna eziyingira n'okufuluma ekibuga Fort Portal poliisi n'amagye bazisuddemu emisanvu baaza emmotoka zonna eziyingira n'okufuluma.
Kino kizze nga leero Pulezidenti w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine ategeka okugenda okunoonya akalulu mu bitundu okuli: Bunyangabu, Bundibugyo ne Kasese. Yasuze ku Jopalz Motel e Fort Portal waasimbudde ku makya okugenda e Bundibugyo.
Wabula bwe yabadde ku leediyo ya Jubilee FM ku Mmande akawungeezi, yalabudde nti bonna abawola Uganda ssente mu kiseera kino bakimanye nti ezimu baziwola Pulezidenti Museveni ng'omuntu, ye Bobi bw'ajja mu buyinza tajja kukkiriza ggwanga kusasula mabanja ago.
Yasuubizza ab'e Fort nti agenda kulwana okulaba ng'obutonde bw'ensi bukuumibwa n'avumirira ekya gavumenti okuwaayo ekibira kya Bugoma e Bunyoro okukirimamu ebikajjo.