TOP

Omuyimbi Walukagga awonye okuliira ku nsiko

Added 24th November 2020

Walukagga ne muwala we e Maya.

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence ng'abuuzibwa akana n'akataano ku bigambibwa nti y'omu ku beenyigira n'okukunga abantu okwekalakaasa mu bwegugungo obwaliwo wiiki ewedde mu ggwanga poliisi bwe yali ekutte Bobi Wine.

Yabadde akunyizibwa Chris Ddamulira akulira ekitongole kino era oluvannyuma baamutadde kyokka nga bamutaddeko obukwakkulizo obukakali omubadde n'okumulabula obutaddamu kwenyigira mu bikolwa by'obumenyi bw'amateeka.

Baamutegeezezza nti okumutta adde awaka tekitegeeza nti talina musango wabula baakikoze okufuna obudde obumala okwongera okumunoonyerezaako era bajja kuddamu bamuyite.

Walukagga oluvudde e Bukoto asibidde mu maka ge e Maya ku luguudo lw'e Masaka gye tumusanze n'omu ku baana be era ono ategeezezza nti leero lwe lusoose okudda eka oluvannyuma lw'ennaku ssatu ng'aliira ku nsiko.

"Bwe baafulumya ekiwandiiko nti poliisi enoonya natya nnyo ne nsalawo okubaako we neekukuma. Bwe baayongedde ekiwandiiko ekirala nga bampadde nsalessale wa Mmande okweyanjula ku poliisi kwe kugendayo.

Ku bya ttiyaggaasi gwe baamukubira e Nalufenya: Walukagga agamba nti, ‘'abasajja bankola ekintu ne bandeka nga ntaawa. Buli lwe nagezangako okutunula nga ndaba Abazungu abansala mu maaso era mu kiseera ekyo natandikirawo okufumintiiriza  nga bwe nzijjukira abasajja nga Dr. Kizza Besigye ne Bobi Wine abazze bakubwa ttiyaggaasi olutatadde''. Okusinziira ku kye nawulidde, bano beetaaga okuwa ekitiibwa.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...