
Minisita Kamuntu (wakati) n'abamu ku bammemba ba UPRS.
Minisita w'ebyamateeka , Polof. Ephraim Kamuntu atongozza olukiiko olufuzi olw'ekibiina ekirwanirira eddembe ly'abayiiya n'okukung'aanya ssente eziva mu bye bakola (UPRS) olwalondebwa gye buvuddeko n'abakubiriza okuba ab'esimbu nga bakola emirimu gyabwe.
Era akubirizza abayimbi ne bannabitone abalala okwegatta bakolere wamu nti lwe bajja okufuna mu nteekateeka eno. Bino yabyogeredde ku Hotel Africana awaabadde omukolo guno. Baafunye n'okubangulwa mu kaweefube w'okulaba nga bakola emirimu gyabwe n'obuvunaanyizibwa.
Minisita yategeezezza nga kino bwe kikoleddwa mu kiseera ekituufu nga ne gavumenti evuddeyo n'amaanyi okuyamba bannabitone n'awa eky'okulabirako eky'etteeka eryayisibwa okukugira abantu okumala gakozesa bintu by'abalala bye bayiiyizza nga tebamaze kufuna lukusa. Yagambye nti bwe banaayogeza eddoboozi erimu bajja kufunamu nnyo.
Ye Justin Bas omu ku bammemba ku lukiiko luno agambye nti babadde balindiridde mukolo guno okutandika okukola era kati bagenda kulonda obukiiko obugenda okukola emirimu egy'enjawulo okulaba ng'abayimbi n'abantu abalala baganyulwa mu kibiina kino n'okufuna ssente ezeegasa okuva mu bye bakola.
Bino we bibeereddewo ng'abayimbi ne bannabitone abalala beemulugunya ku ssente entono ezibaweebwa okuva mu bintu bye bakola ate nga bagamba ssente nnyingi ezisoloozebwa era nga kino kye kyaviirako olukiiko lwa James Wasula eyali akulira UPRS okugobwa ne bateekawo enteekateeka y'okufuna olukiiko olupya.