
Erias Lukwago.
LOODI Meeya wa Kampala, Erias Lukwago bamututte Nairobi kufuna bujjanjabi. Kiddiridde Lukwago okulwala n'afuna obujjanjabi mu ddwaaliro e Lubaga n'e Mulago kyokka obulwadde ne bulema.
Ddereeva wa Lukwago era omuyambi we Yasin Ssali, yategeezezza Bukedde kati embeera ya mukama we egenda etereera.
Yasitudde okuva e Ntebe ku ssaawa 3:00 ekiro ku Lwokubiri ng'ayitira mu nnyonyi ya Uganda Airlines.
Wabula Ssali tayogedde bisingawo ku bulwadde na kiki ddala ekiruma Lukwago kyokka gye buvuddeko yawuliddwa nga yeebaza abasawo b'e Lubaga ne Mulago olw'okutaasa obulamu bwe.