TOP

'Muntaase munponye okusula mu loogi'

Added 25th November 2020

Nassimu Kyazike.

Nassimu Kyazike.

OMUSERIKALE wa UPDF abafere gwe baalimba okuguza enju ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu n'okumubbako obukadde 13 alaajanidde Gavumenti n'abazira kisa okumuyamba okufuna waabeera. 

Nassimu Kyazike mu byambalo by'amagye.

Sgt. Nasiimu Kyazike 70, nnamba RAV/026035 eyasangiddwa mu loogi emu ku Kaleerwe mu Ssebina Zooni yategeezezza nti yayingira amagye mu 1985 oluvannyuma lw'abazadde be okufa ng'akyali muto okutuusa lwe yagawumula mu 2016. Akasiimo ke baamuwa baakamubbako abasajja bwe baamulimbalimba nga bwe bagenda okumufunira ennyumba ewedde e Kawempe.

Kyokka mu mmotoka mwe baamuteeka mwe baamukubira kalifoomu ne bamubbako obukadde 13. Oluvannyuma baamusuula ku mabbali g'oluguudo nga takyategeera abantu we baamusanga ng'aboyaana ne bamutwala ku poliisi y'e Kawempe. Kyazike yategeezezza nti talina waasula nga n'olumu ssente z'okupangisa loogi zimubula ng'ate 200,000/- gye bamusasula asasula looni gye yeewola.

Yategeezezza nti ayagala okumuyamba ayinza okumufunira ku ssimu nnamba 0754516667 eya Ronald Ssebuggwawo. Yasabye bakama be mu magye bwe baba basobola bamuzzeeyo mu magye kubanga ensi emuzitooweredde. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...

Bannaddiini mu kuziika omugenzi Kibuuka Musoke.

Amagye ga Gavumenti ya Ethi...

ADDIS ABABA, Ethiopia ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu...

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

Ekiraamo kya Zizinga kiwuun...

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira....

Hajji Jamir Ssebalu.

'Abakozi mufeeyo ku mirimu ...

Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza...