
Katuukiro (owookubiri ku ddyo), Polof Kisambira (akutte akazindaalo) ne baminisita ba Busoga.
KYABAZINGA wa Busoga William Wilberforce Nadiope IV akungubagidde Vincent Ntalo Kakete taata wa Katuukiro we, Dr. Joseph Muvawala. Mu bubaka bwe yatisse omumyuka owookubiri owa Katuukiro, Polof. Muhamad Lubega Kisambira, yategeezezza nti omugenzi waakujjukirwa olw'ezzadde lye yateekateeka obulungi.

Ntalo yafudde ku Lwokusatu nga November 18, oluvannyuma lw'okulwalira ebbanga. Yaziikiddwa mu maka ge ku kyalo Kivubuka mu divizoni y'e Budondo mu Jinja City ku Ssande. Ye minisita omubeezi w'ebyobwegassi, Fredrick Ngobi Gume yategeezezza nti omugenzi abadde kyakulabirako kirungi.
Gume yagambye nti Ntalo abadde musajja wa bigambo bitono naye nga bw'omusobya, eriiso ly'akukuba likuddusa. Yagambye nti eggwanga liri mu kattu olw'abazadde okulowooza nti abaana baabwe ba gavumenti ne balemererwa okubagunjula nga bwe kyetaagisa.
Omugenzi yaweerezaako mu kitongole ky'eggwanga eky'ennyonyi ekya Uganda Civil Aviation Authority era n'asomesaako ku East African School of Aviation e Nairobi. Era yaliko ssentebe w'akakiiko ka disitulikiti y'e Jinja akagaba emirimu mu kisanja kya Gume era yategeezezza nga bw'ataali mulyake.
Omulabirizi wa Busoga, Paul Samson Naimanhye eyakulembedde okusaba yagambye nti omugenzi abadde kyakulabirako eri abazadde olw'okwagala ebyenjigiriza okuviira ddala mu ffamire. Omugenzi yafiiridde ku myaka 80 n'aleka nnamwandu, abaana 7 n'abazzukulu.