
Abasawo nga bassa omwana mu ‘incubator’
OMUWENDO gw'abaana abafa nga tebannatuusa myezi 9 (kwe balina okuzaalibwa) mu disitulikiti y'e Kamuli, Buyende ne Kaliro gugenda kukka oluvannyuma lw'abazirakisa okuzimba "Intensive Care Unit (ICU) for Preterm Babies" mu ddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu.
Ku Lwokutaano, lwabadde lunaku lwa ‘World Prematurity Day', aba Plan International - Kamuli ne bakwasa abakungu b'ekitongole ky'obyobulamu e Kamuli yuniti eno erimu ebyuma ebisobola okukuza abaana 50 - 60 omulundi gumu. Mu byuma ebirimu, kuliko ‘incubator', ebidomola bya ‘oxgyen', ttawulo ezibikka abaana, ebitanda eby'omulembe, enkampa, amazzi g'eccupa ne kalonda omulala, nga byawemmense obukadde 447.
Sipiika Kadaga era nga ye mubaka wa Kamuli omukazi eyabadde omugenyi omukulu, yasiimye Plan olw'okwongera omutindo ku bulamu bw'abaana b'e Kamuli, Kaliro, Buyende ne Kayunga. Akulira ebyobulamu e Kamuli, Dr. Fred Duku, yagambye nti ebyuma bijjidde mu kiseera ekituufu kuba yuniti eno babadde bagisanga Jinja.
ABAANA 34 KU 1,000 BABADDE BAFA Dr. Margaret Nakakeeto, ssentebe wa Newborn Steering Committee agamba nti abaana 34 ku buli 1,000 be bazaalibwa ne bafa e Kamuli, Kaliro ne Buyende, ng'ate mu ggwanga, 27 ku buli 100 be bafa. Dr. Nakakeeto agamba nti kiva ku nsonga eziwerako okuli amalibu ag'enjawulo mu mpeereza z'ebyobulamu, sisitiimu z'ebikozesebwa ennafu.
ABAZAALISA BAGENDA KUTENDEKEBWA Kaminsona mu by'okuzaalisa n'endabirira y'abaana mu ggwanga, Jesca Nsungwa Sabiiti yagambye nti minisitule y'ebyobulamu eyongedde kkoosi y'okubangula abazaalisa (Midwives) mu bukugu okulabirira abaana mu ICU.