TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abookya enkoko e Wandegeya baagala kweriira ku bya Gabula

Abookya enkoko e Wandegeya baagala kweriira ku bya Gabula

Added 26th November 2020

ABOOKYA enkoko e Wandegeya nga bakulembeddwa Mustafa Kafeero beebazizza kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde olw’obuweereza obusimbye emirandira ku muntu waabulijjo.

Abamu ku bookya enkoko e Wandegeya nga balaga obukonge bwa Gabula Ssekukkulu bwe bajjuzza.

Abamu ku bookya enkoko e Wandegeya nga balaga obukonge bwa Gabula Ssekukkulu bwe bajjuzza.

ABOOKYA enkoko e Wandegeya nga bakulembeddwa Mustafa Kafeero beebazizza kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde olw'obuweereza obusimbye emirandira ku muntu waabulijjo.

Bano nga buli omu yaguze kkopi ya Bukedde bajjuzza obukonge bwa Gabula nga bwe bawaga nti ku luno nabo kabeeriire ku byassava ku Ssekukkulu. "Ffe abenkoko e Wandegeya twalina abatutawaanya nga baagala na kutugoba wano, naye bwe twayita Bukedde n'afulumya ensonga zaffe, ebyaffe byatereera era tewakyali atunyeenya.'' Kafeero bwe yakkaatirizza.

Yakubirizza abantu mu Uganda yonna okwetaba mu kazannyo ka Gabula Ssekukkulu Eddigobe akategekeddwa Bukedde ng'addiza ku basomi be, abalabi n'abawuliriza. Okwetaba mu kalulu kano gula kkopi y'olupapula lw'amawulire olwa Bukedde ku 1,000/- zokka, ogende ku muko ogwokubiri okuli akakonge.

Jjuzaamu erinnya lyo, ennamba yo ey'essimu ne gy'obeera. Bw'omaliriza, akakonge kaleete ku ofi isi zaffe e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero oba okawe agenti waffe eyo gy'oguze amawulire. Ate ku Bukedde Fa Ma ‘Embuutikizi' linda oluyimba lwa Philly Lutaaya olwa ‘Merry Chrismas' nga kazannyiddwa.

Bw'okuba essimu nga ggwe owookusatu, ojja kubeera muwanguzi ogende mu ‘supermarket' ya Mega Standard weefunire ebyassava. Ne ku Bukedde Ttivvi, bw'olaba oluyimba lwe lumu n'okuba essimu, obeera owangudde. Gabula Ssekukkulu w'omwaka guno awagiddwa kkampuni y'ebyenkoko eya UgaChick, abatunda wayini wa Mary and Jesus Wines ne Mega Standard supermaket.

Abantu abalala abalina omutima omugabi bakyasobola okwegatta ku Bukedde okwongera ku birabo ebinaagabibwa mu Gabula Ssekukkulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....