TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akola ebinyiriza ettaala z'omu nju n'afuna ssente

Akola ebinyiriza ettaala z'omu nju n'afuna ssente

Added 26th November 2020

CAROLINE Twambazemungu akozesa yintaneeti ne yeeyigiriza okuluka ebinyiriza ettaala z’omu nnyumba. Twambazemungu okuva mu Creative World Home Décor agamba, “Nali ntigiinya yintaneeti ne ndabako ebitaala ebyansanyusa. Nagenda okubyetegereza nga bikolebwa mu wuzi ezitunga ebitambaala.

Twambazemungu ng’alaga ebinyiriza ettaala by’akola.

Twambazemungu ng’alaga ebinyiriza ettaala by’akola.

CAROLINE Twambazemungu akozesa yintaneeti ne yeeyigiriza okuluka ebinyiriza ettaala z'omu nnyumba. Twambazemungu okuva mu Creative World Home Décor agamba, "Nali ntigiinya yintaneeti ne ndabako ebitaala ebyansanyusa. Nagenda okubyetegereza nga bikolebwa mu wuzi ezitunga ebitambaala.

Ku yintaneeti kuno era kwaliko n'engeri gye nnyinza okubikola. Natandikira ku bbaluuni. Nagulayo bbaluuni n'obuwunga bwa muwogo ne ntandika okuzizingirira ku bbaluuni. Bwe nnamala ne ngisiba ku waya wabweru ne nnyanika mu musana okusobola okwekwata. Yamalayo eddakiika ssatu zokka bbaluuni n'eyabika ne njula okukaaba kuba byagaana okuvaayo nga ne wuzi zoonoonese, ne nzooza ne nzaanika.

Olwaddako nnafuna mupiira ne nguzingirirako ewuzi. Ku luno nnayanika mu kisiikirize, bugenda okukya nga wuzi zikaze ne nziggyamu omukka, ekitaala kyange ne kivaamu bulungi ne nkitimba mu nnyumba yange. Bwentyo bwe nnatandika okukola ebitaala bino.

AKATALE: Olwamala okukola ekitaala ekyasooka, nnakikuba ekifaananyi ne nkiteeka ku mutimbagano gye nnafuna wooda eyasooka. Kaali kamyufu kasitoma n'ansaba nkamukolere mu langi ya maluuni era yampa 10,000/-. Naye oluvannyuma nnalaba nga 10,000/- mutono ne nnyongeza, ne ntandika okubitunda 25,000/- nsobole okufunako ekiwera kuba nteekamu obudde obuwera.

BIKI BYE WEETAAGA OKUKOLA EBIBIKKA KU TTAALA?  Ekiwuzi - 4,500/-, Amasanda - 5,000/-, Omupiira - 2,500/-  ng'awamu ekitaala kino kimalawo 12,000/- nga buli kimu nkitunda 25,000/- . Biwandiikiddwa RUTH NAZZIWA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...