
Lukwago mu ddwaaliro.
ABASAWO bakola ekisoboka okutaasa Loodi-Meeya Ssaalongo Erias Lukwago eyalumbiddwa obulwadde bwa ‘Acute Anaphylaxis' obwamutwazizza e Nairobi. ‘Acute Anaphylaxis' bulwadde bwa mutawaana obuleetera omuntu alagye (allergy) n'okukolola ng'omulwadde w'akafuba.
Ebiseera ebimu bugonza omulwadde, buvaako okusesema n'okukolola omusaayi. Bukubya entunnunsi ne puleesa okukka wansi. Bukaluubiriza omulwadde okwogera, okumira n'okussa. Bufuukuula olususu ne buleeta ebirogologo n'okusiiyibwa. Lukwago yatwaliddwa mu Aghakan Hospital ku Lwokubiri ekiro. Yawerekeddwaako mukyala we Nnaalongo.
EGGULO YASIIBYE MU BYUMA NGA BAMWEKEBEJJA Amaze emyezi ebiri ng'alumizibwa obulwadde buno. Ku Lwomukaaga bwamulumbye ng'ali ewuwe e Lubaga mu Bulwa Zooni. Baamututte mu ddwaaliro e Lubaga n'afuna obujjanjabi. Yazziddwa eka n'ayongera okuba obubi ku Ssande olwo abasawo be okuva e Lubaga ne basemba ayongerweyo e Nairobi. Baasoose kumukebera corona nga talina.
Ku Lwokubiri n'alyoka agenda e Nairobi. Lukwago emirundi mingi Abasawo bye bazudde ku bulwadde bwa Lukwago abadde ayisibwa bubi obulwadde buno nga bumulumbye. Kigambibwa nti olumu abadde akyaza abagenyi n'alemererwa okwogera nabo.
Olumu lwamukuba mu ofiisi ku City Hall ne bamutwala mu ddwaaliro ng'ali bubi. Ate ku mukolo gw'okusiima emirimu n'okusabira Alhajj Nasser Ntege Sebaggala ogwali ku City Hall, Lukwago bwe yamala okwogera n'alumbibwa obulwadde n'ayisibwa bubi.
Omumyuka wa Loodi -Meeya, Doreen Nyanjura yafulumizza ekiwandiiko eggulo n'ategeeza nti omuloodi alumizibwa obulwadde bwa ‘Acute Anaphylaxis'. Yatwaliddwa e Nairobi okwongera okwekebejjebwa. Kyokka tali bubi nnyo era yagenze yeetambuza, ayogera bulungi era baabadde bawuliziganya.
Omusawo omukugu Dr. Mayambala Kiwanuka annyonnyola nti ‘Acute Anaphylaxis' bubonero obutera okuva ku bulwadde obulala okugeza omusujja gw'enkaka, Corona oba lubyamira n'okunafuwa kw'egimu ku misuwa egitambuza omusaayi okugutwala ku mutima. Yategeezezza nti okuzuula obulwadde kyetaagisa obukugu era emirundi egisinga omulwadde assibwa mu byuma mu kifo awajjanjabirwa abayi ekya Intensive Care Unit (ICU).
Ate KIZITO MUSOKE agamba nti, Dr. Musa Nkalubo omusawo w'e Mulago era nnannyini Your Clinic ku Mwanga II Road yagambye nti obulwadde buno buva ku mubiri ‘kufuna ntondo' oluvannyuma lw'okufuna ebirungo ebitakwataganye mu mubiri. Kino kisobola okuva ku bintu ebiwerako ng'okulumwa ekiwuka ng'enjuki, okumira eddagala ekyamu oba okulya ekintu omubiri gwe kitayagala.
Mu mbeera eya bulijjo omubiri bwe gufuna ekintu kye gutaagadde gusobola okufuna ebirogologo, okusiiyibwa, okuwulira ng'amaggwa agakufumita mu mubiri oba okubabuka emimwa. Kyokka ekyenjawulo ku bulwadde buno okukosebwa kubeera munda mu misuwa.
Obumu ku bubonero bw'obulwadde mulimu; okuwulira ebbugumu mu mubiri kyokka nga toyokya, osobola okufuna okwesika nga tewali mbeera ekireese, oyinza okuwulira omutima nga gwewuuba, amaaso gakyuka, emmeeme esinduukirira, enkuba y'entunnunsi ekendeera, okufuna embiro, okuzimba obulago n'okulemererwa okwogera. Abasawo babeera n'eddagala erisoboka okukkakkanya obulwadde.