
Ssegirinnya ng'awaga
Ssegirinya azzeemu okwegatta ku Bobi Wine n'awera "Tewali kuzikiza. Twagala ntebe 2021…"
Loodi kansala, Muhammadi Ssegirinya amanyiddwa nga ‘mr update' eyakayimbulwa okuva mu kkomera ku kakalu ka kkooti y'e Jinja ku misango gy'okukuma omuliro mu bantu, azzeemu okwegatta ku kkampeyini za Robert Kyagulanyi Ssentamu akwatidde ekibiina kya NUP bendera ku ntebe y'obwa pulezidenti.
Ono nga naye avuganya ku kifo ky'omubaka wa palamenti owa Kawempe North ategezezza nti wadde akyali mukosefu,
Abadde tasobola kusigala waka ng'atudde nga mukama we ali mu kutalaaga ggwanga anoonya bululu.

Ono Kyagulanyi yamwegasseko ggulo era leero akedde naye e Bulisa gy'asoose okukuba olukung'aana olusoose.
Kyagulanyi leero ali Bulisa, Kiryandongo ne Masindi ng'apereereza abayo okumulonda ku bwa pulezidenti.
Ssegiribya wiiki ewedde ab'eby'okwerinda bamukwatidde wabweri wa poliisi y'e Nalufenya e Jinja gye yabadde agenze ku bya Bobi Wine ne bamugalira oluvannyuma bamututte mu kkooti ne bamusomera emisango omwabadde n'okukuma omuliro mu bantu