TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Henry Mayanja akomyewo na nkuba empya, akubye oluyimba lwa Museveni

Henry Mayanja akomyewo na nkuba empya, akubye oluyimba lwa Museveni

Added 26th November 2020

OMUKUBI  w'ennanga, Henry Mayanja akomyewo na nkuba empya. Afulumizza oluyimba olusuusuuta pulezidenti n'ekibiina kya NRM n'asaba abbo bwe batawagira kibiina kye kimu obutamulumba kuba buli muntu alina ekimusanyusa ne kyayagala.

Oluyimba mwatadde ‘ebirungo' ne vidiyo ey'omulembe eraga ebimu ku bintu pulezidenti Museveni by'akoze alutumye ‘Amba'. agamba nti ng'ogyeko okuba olw'eby'obufuzi lulimu eby'okuyiga bingi.

"Kituufu tewali muntu atukiridde naye tulina okweteekamu omutima ogusiima ebyo omuntu byabeera akoze ne bwe biba bitono.

Emyaka pulezidenti Museveni g'amaze mu buyinza ndaba alina bingi byasobodde okukola kale bwenvaayo nga Mayanja omuyimbi era omuwangizi wa NRM okumusiima mu mbeera eno ndowooza mba sirina musango gwenkoze." Mayanja bwe yagambye.

Bwe yabuuziddwa oba naye anoonya ssente nga Ronald Mayinja n'abalala abakoze ennyimba za NRM ne basasulwa yazzeemu nti

"bwe bampa ssente mu mbeera y'okusiima sizigaana naye omulamwa gwange omukulu kusiima pulezidenti ate luno si lwe luyimba olusoose. Maze ebbanga nga muwagira n'enyimba nga nziyimba. mu 2010 nakuba oluyimba ‘Movement long live' kuno kwosa n'enddala."

Bw'atuuse ku mbeera gye bayitamu ng'abali mu nsike y'okuyimba, yagambye nti "nze n'abayimbi abatono abayimba ku mikolo tulinawo ku njawulo nti bateera okutupangisa ne tukola wadde nga ssente bazisaala nnyo ate n'emikolo mitono naye bannafe abasinga bali bubi kale nsaba gavumenti yaffe etulowoozeko nnyo tuddemu okukola"

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...