TOP

Batidde bazadde ba Lukwago okumanya bw'ali

Added 29th November 2020

Amaka ga bazadde ba Lukwago e Kabungo.

Amaka ga bazadde ba Lukwago e Kabungo.

ABOOLUGANDA lwa Loodi Meeya Ssaalongo Erias Lukwago abaasangiddwa e Kabungo mu ggombolola y'e Kyamuliibwa e Kalungu mu maka ga Hajji Muhamood Mirundi ne Salimat Nakayaga, bategeezezza nti bazadde baabwe baabadde bakyagaanye okubabuulira amawulire g'okulwala kwa mutabani waabwe nga bagamba nti okusinziira ku mbeera gye balimu bayinza okuyisibwa obubi. Awaka waabadde wasiriifu nga bazadde ba Lukwago bombi omusasi ono yabasanze mu nnyumba gye bataamuganyizza kuyingira kwogerako nabo.

Lukwago Kcca

Erias Makubuya, mukulu wa Lukwago nga musomesa w'eddiini mu Kiwaawo Moslem Primary School yategeezezza nti amawulire g'okulwala kwa Lukwago baagafunye nga yaakamala wiiki bbiri ng'avudde mu kyalo ku mikolo gy'okuziika.

Yagambye nti eyamukubidde essimu yamugumizza nti e Nairobi, Lukwago yatwaliddwa okufuna obujjanjabi obusingako si lwakuba nti embeera ye yabadde etiisa nnyo ng'era ne ku Lwokuna ku makya yazzeemu okumugumya nti embeera yeeyongera kulongooka.

Yasambazze ebigambibwa nti oba olyawo obulwadde bwa Lukwago bwekuusa ku mbeera y'ebyobufuzi gy'ayitamu ennaku zino n'agamba nti aboogera ebyo balimba kubanga muganda we naye muntu asobola okufuna obukosefu ku bulamu bwe obudde bwonna ng'omuntu omulala yenna bwe yaalibadde.

Shafik Mugerwa ng'ono ayita Lukwago taata omuto yayongeddeko nti okusinziira ku be bawuliziganya nabo abali okumpi n'omulwadde, omuntu waabwe obudde bwonna akomawo. Wabula abamu ku batuuze baalaze okutya nti obunyoolagano bw'ebyobufuzi bw'azze abeeramu nabwo oba olyawo busobola okumunafuya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....