TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu liggaddwaawo lwa corona

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu liggaddwaawo lwa corona

Added 29th November 2020

Ssentebe wa LC V e Buyende Robert Ziribasanga ng’alambuza ababaka ba palamenti woodi y’abakyala etaggaddwaawo.

Ssentebe wa LC V e Buyende Robert Ziribasanga ng’alambuza ababaka ba palamenti woodi y’abakyala etaggaddwaawo.

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu erijjanjaba abalwadde abasoba mu 3,000, liggaddwaawo oluvannyuma lw'abasawo 24 okusangibwa n'ekirwadde kya Covid-19. Ng'oggyeeko abasawo 24, n'abakozi 7 ababayambako nabo balwadde, bw'oggattako abantu abalala oweza omuwendo gwa bantu 49, abaazuuliddwa n'obulwadde buno mu kiseera kye kimu.

Embeera eno yawalirizza akulira ebyobulamu Dr. Fred Duku okuyita olukiiko olw'amangu ne kisalibwawo eddwaaliro okuggalibwa okusobola okutaasa abantu abalala okukwatibwa obulwadde buno. Woodi zonna zaggaddwa okuggygako omwabadde ba nnakawere ne ba bbebi, era abalwadde ne balagirwa bagende banoonye obujjanjabi awalala. Embeera eno yatandika wiiki ewedde, omu ku basawo ababadde mu nkambi ya Covid-19 bwe yasangibwa n'obulwadde buno.

"Twasalawo okukebera okw'obuwaze, era ebyavudde e Ntebe byalaze nti abasawo 24 balwadde, ng'ate abakozi abatali basawo 7 nabo ssennyiga bamulina," Dr. Duku bwe yagambye. Mu nnaku ey'ekitalo, abalwadde baalabiddwa nga basitula engugu okuva mu woodi okunoonya obujjanjabi, era abamu baawuliddwa nga bakaaba nti bazzeeyo bafiire mu maka gaabwe kuba tebalina ssente za malwaliro ga bwannannyini.

TEBAAMANYA NG'OBULWADDE BUGENDA KUBAZINGAKO                                                                                                                     Dr. Duku yannyonnyodde nti omusawo eyasooka okuzuulibwa yasooka buteewulira bulungi ne bamukebera, ebyavaamu byabawaliriza okumujjanjabira mu kifo ekyekusifu. Kyokka baagenze okukebera abasawo abalala ne bakizuula ng'obulwadde bwabazingako dda. Yagambye nti wonna omugatte, abantu abaakafa mu Kamuli bali 4, ng'eyasembyeyo ye mubaka wa Munisipaali y'e Kamuli, Hajjati Rehema Watongola, ate e Buyende, 3 be baakafa. Akulira eddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu, Dr. Zaidi Atuma, yalabudde abantu balekere okuzannyira ku bulwadde nti tebuliiwo, era n'abasaba bongere okugondera ebiragiro okuli okunaaba mu ngalo, okwewa amabanga n'obutabeera mu bifo birimu bantu bangi. Yuniti ya Covid 19 mu ddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu yaggulwawo mu March 2020.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....