TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi w'e Bugoloobi eyakwatibwa poliisi akyabuze

Omusuubuzi w'e Bugoloobi eyakwatibwa poliisi akyabuze

Added 29th November 2020

ABOOLUGANDA lwa Martin Lukwago omu ku basuubuzi mu katale k'e Bugoloobi abaakwatibwa ebitongole by'ebyokwerinda ate munne ne bamukuba amasasi bali mu bweraliikirivu olwa poliisi okugaana okubabuulira gyali.

Mukyala wa Lukwago n'abaana baabwe.

Mukyala wa Lukwago n'abaana baabwe.

ABOOLUGANDA lwa Martin Lukwago omu ku basuubuzi mu katale k'e Bugoloobi abaakwatibwa ebitongole by'ebyokwerinda ate munne ne bamukuba amasasi bali mu bweraliikirivu olwa poliisi okugaana okubabuulira gyali.

Lukwago eyakwatibwa.

Baabadde bakulembeddwa Mary Namuyanja mukyala wa Lukwago. Yagambye nti okuva ebitongole by'ebyokwerinda lwe byakwata bbaawe, ku Mmande ya wiiki ewedde tebamukkiriza kumulabako. Yagambye nti ayita mu mbeera mbi n'abaana baabwe kubanga takyasobola kubalabirira.

Agamba nti batambude ku poliisi ez'enjawulo wamu n'ebitebe by'ebyokwerinda nga baagala okumanya Lukwago gy'ali kyokka bagamba nti tebamumanyi.

Banne ba Lukwago baakola nabo.

Namuyanja asabye ab'ebyokwerinda okutwala bbaawe mu kkooti avunaanibwe bw'aba alina omusango gwe yazza kubanga banne bonna be yakwatibwa nabo baabata. John Kazibwe,Ronald Mutebi ne Charles Okumu abamu ku baakwatibwa ne Lukwago balojja  embeera embi gye baabayisaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....