TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka alagidde wateekebwewo akakiiko okunoonyereza ku kwekalakaasa

Kabaka alagidde wateekebwewo akakiiko okunoonyereza ku kwekalakaasa

Added 29th November 2020

KABAKA alagidde wateekebwewo akakiiko okunoonyereza ku kiki ekyaviirako okwekalakaasa n’enfa y’abantu abasukka 50 mu makkati g’omwezi guno ng’ekinazuulwa kyakuyamba okuzzaawo emirembe mu Uganda.

Dr.Nelson Musoba ng'akwasa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ekirabo.(Ebif. Dickson Kulumba).

Dr.Nelson Musoba ng'akwasa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ekirabo.(Ebif. Dickson Kulumba).

KABAKA alagidde wateekebwewo akakiiko okunoonyereza ku kiki ekyaviirako okwekalakaasa n'enfa y'abantu abasukka 50 mu makkati g'omwezi guno ng'ekinazuulwa kyakuyamba okuzzaawo emirembe mu Uganda.

Kabaka ng'akuba Hope Mukasa akaama.

Okwogera bino yabadde akulembeddemu Obuganda mu Lubiri e Mmengo ku Ssande okusimbula emisinde gy'amazaalibwa ge ag'omulundi 65 n'asasira ab'enganda z'abantu abaafa wamu n'abakyali mu makkomera.

"Kyandibadde kirungi abo bonna bekikwatako okufa ku bulamu bw'abantu era ssinga wateekebwawo akakiiko okwetegereza okwekalakaasa kuno n'enfa y'abantu wamu n'abaafunye ebisago, kyandibadde kirungi''. Kabaka Mutebi II bwe yayogedde.

Katikkiro Mayiga ng'ayanjulira Kabaka Muky. Dorothy Kisaka akulira ekitongole kya KCCA.

Abantu okwekalakaasa mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo kyaddirira poliisi okukwata Pulezidenti w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine. Baamukwatira mu bitundu by'e Luuka ne bamusibira e Nalufeenya nga November 18 ne 19. Kabaka yawadde eky'okulabirako ky'okwekalakaasa kwa 1945 omwafiira abantu munaana ne wasibwawo okunoonyereza ku nfa y'abantu bano.

Kabaka yatuuse mu Lubiri ku ssaawa 2:10 ez'oku makya n'ayanirizibwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, Minisita w'ebyemizannyo Henry Ssekabembe Kiberu n'abalala.

Omuwala n'omukadde nga batambula.

Emisinde gino gyatambulidde wansi w'omulamwa: ‘'ABASAJJA TULWANYISE MUKENENYA TUTAASE ABAANA AB'OBUWALA.''

‘'Endwadde zino zonna okusobola okuzirwanyisa n'okuziwangula,zeetaaga ensi omuli eddembe, abantu nga bakolagana bulungi, bakwatagana bulungi naddala n'ebitongole ebikola ku kujjanjaba abantu. Omusaayi gw'abantu ba Uganda guyiise mungi nnyo kasookanga tufuna obwetwaze nga Bannayuganda batting'ana awatali kulumbibwa nsi ndala. Nkubira abo bonna bekikwatako omulanga okulaba nti obulamu bw'abantu nti tebabufiirwa, tubutwale ng'ekintu ekikulu," Kabaka bwe yagambye.

Ab'ekitongole ekirwanyisa mukenenya mu nsi yonna, baalonda Kabaka okubeera ambasada waabwe mu kulwanyisa obulwadde buno mu Afirika ey'obuvanjuba n'amaserengeta era akiikirira ekitongole (UNAIDS) kino mu Uganda.  Karusa Kiragu yeebazizza Kabaka olw'omulimu omunene gwakoze okuli okubunyisa amawulire agakwata ku mukenenya.

Dr. Nelson Musoba akulira akakiiko k'eggwanga akalwanyisa siriimu yakwasizza Kabaka ekirabo ekimwebaza olw'okulwana okulaba ng'abantu babeera balamu ne yeeyama okwongera okukolagana n'Obwakabaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Obugagga bwa Bisaka buwunii...

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu...

Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Busega.

Abawagizi ba pulezidenti Mu...

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa...

Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.

Ssegirinya wansuubiza okunf...

NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo....

Kansala Bitamiisi (ku kkono) abantu gwe baagambye nti muto.

Omwana asuuzizza maama eggaati

ABANTU bawuniikiridde bwe balabye omuwala abamu gwe baayisa omwana ng'awangudde obwakansala okukiikirira eggombolola...

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...