
Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.
OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi 300 okuva ku Total highway oba Welcome mu Nyendo ne bagikomekkerereza mu Nakaiba.


Kabanda akunze Bannamasaka okwongera okuwagira ennyo enteekateeka za Ssaabasajja Kabaka ezikwata ku by'obulamu, ebyenjigiriza n'enkulaakulana nga bali bumu.
Wadde nga naye yeesimbyewo okukiikirira Masaka City mu Paalamenti eddako, abasabye obutawalana bannaabwe lwa byabufuzi kuba bya kiseera buseera ng'ekikulu kwe kwegattira mu bitwala Masaka mu maaso.