TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama ne muwala we batabuse lwa mmaali ya busika

Maama ne muwala we batabuse lwa mmaali ya busika

Added 30th November 2020

MAAMA ne muwala we batabuse lwa mmaali ya busika buli omu gy'akaayanira nti y'agirinako obwannannyini. Abaana baatuuse n'okuloopa maama waabwe nga bamuvunaana okugaana okubagabanya ebintu n'okusingira ddala ekibanja kye baafuna ku Bukojja.

Kirimubbanja ng'asoma ekiraamo mu lukiiko.

Kirimubbanja ng'asoma ekiraamo mu lukiiko.

MAAMA ne muwala we batabuse lwa mmaali ya busika buli omu gy'akaayanira nti y'agirinako obwannannyini.           Abaana baatuuse n'okuloopa maama waabwe nga bamuvunaana okugaana okubagabanya ebintu n'okusingira ddala ekibanja kye baafuna ku Bukojja.

Namusisi.

Beeyuzizza mu lukiiko olwatuuziddwa kkooti y'eggombolola era nga lwetabiddwamu ofiisi erondoola ebintu by'abafu e Kayunga ne poliisi y'amaka. Omuwala Regina Abbo y'atabuse ne nnyina  Margaret Nantongo Namusisi olw'ebibanja n'enyumba ebyali ebya jjajja wa Abbo omugenzi Rose Kyazike. Bino biri ku kyalo Bubajjwe mu ggombolola y'e Kayunga  mu disitulikiti y'e Kayunga.

          Abbo yasikira jjajjawe Kyazike azaala nnyina Nantongo Namusisi nga kati omwana ayagala ebibanja bya jjajja we bimuddire kubanga ye musika ng'ate maama akalambira nti oyo omuwala yasikira musaayi ssi bintu.  Baatuuse n'okuggyayo eddaame wabula Namusisi naligaana ng'aliyita jjingirire kubanga nnyina teyassaako kinkumu.

Abbo eyasikira jjajja we.

          Omukadde Namusisi alayidde nti omwana yenna ayagala okugabana ku bintu bya jjajja we amulinde (Namusisi) amale okufa naye ng'akyali mulamu kikafuuwe.  Abbo alumiriza nnyina okumuteekako obukyayi n'atuuka n'okumuswaza mu lumbe lwa jjajja ng'amulangira obukumpanya kubanga yanyaga ku Bakkojja be ebintu byonna.

          Anthony Kirimubbanja ssentebe wa kkooti y'eggombolola ategeezezza nti bafubye okutabaganya maama n'omwana wabula kikyali kizibu.  Kirimubbanja agamba nti bagenda kwongera okuwuliriza enjuyi zombi n'oluvannyuma basalewo ekyenkomeredde.

          Collin Kafeero alondoola ebintu by'abafu e Kayunga ensonga yazirekedde aba kkooti bazimalirize.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...