TOP

Embeera ya Lukwago mu ddwaaliro e Nairobi

Added 30th November 2020

EMBEERA ya Loodi Meeya Erias Lukwago ekyali mbi. Abasawo bakyataganjula oba ayinza okuba n’akatole k’omusaayi mu mawuggwe era bamwongeddeyo mu ddwaaliro lya Nairobi Hospital gye bamuwadde ekitanda, abakugu bongere okumukebera okuzuulira ddala ekizibu we kiri. Aba Aga Khan baazudde nti amawuggwe ge galina ekizibu.

Lukwago mu ddwaaliro e Nairobi.

Lukwago mu ddwaaliro e Nairobi.

EMBEERA ya Loodi Meeya Erias Lukwago ekyali mbi. Abasawo bakyataganjula oba ayinza okuba n'akatole k'omusaayi mu mawuggwe era bamwongeddeyo mu ddwaaliro lya Nairobi Hospital gye bamuwadde ekitanda, abakugu bongere okumukebera okuzuulira ddala ekizibu we kiri. Aba Aga Khan baazudde nti amawuggwe ge galina ekizibu.

Nti tegasobola kussa bulungi. Gayingiza empewo ebitundu 70 ku buli 100 ku mpewo omuntu omulamu gye yandibadde ayingiza. Baamulagidde agende mu Nairobi Hospital omuli abakugu n'ekyuma ekisingako yeekebejjebwe.

Kyokka ennaku essatu z'amaze bamuwadde eddaggala erisobodde okumuyamba era wadde akyali mugonvu naye mugumu nti abasawo balina bye bakyusizza era agenda kutereera. Omusawo mu ddwaaliro ly'e Mmengo, Dr. Mayambala Kiwanuka, bwe yatuukiriddwa ku kye kitegeeza omuntu okussa omukka oguli ebitundu 70 ku 100, yannyonnyodde nti embeera eyo teyeeraliikiriza nnyo okuggyako ssinga abadde assa omukka ogukka wansi w'ebitundu 50 ku 100.

Yategeezezza nti abakugu bateekwa okuzuula ekizibu kyennyini era abasawo bongere okwetegereza ekizibu kwe kiva kubanga obwo bwonna bubonero obulina ekinene kye buba bulanga. Lukwago yayogedde ne Bukedde kyokka ng'awulikika omukka abaka mubake era ayogerera eddakiika ntono n'ava ku ssimu nti abasawo tebamukkiriza.

Lukwago yatwaliddwa e Nairobi ku biragiro by'abasawo be abakugu okuva e Mulago ne Nsambya abaasembye agende e Nairobi awali ebyuma ebisingako yeekebejjebwe okuzuula ekizibu we kiva ne kimukaluubiriza okussa ate ng'enfunda zonna ze bamukebedde Covid 19 babadde bazuula nti tamulina.

Muganda we, Hajj Ssewankambo, ku lwa ffamire yalaze okutya nti ekirwadde ekiruma Omuloodi kyewuunyisa kubanga amawuggwe ge gabadde malamu nnyo naye gayinza okuba nga gaakoseddwa omukka gwa ttiyaggaasi gwe babadde bamukuba kati emyaka 10 nga yeenyoola n'abaserikale mu byobufuzi.

Lukwago bwe yatuuse mu ddwaaliro baamutadde mu kyuma okutunuulira okussa, n'engeri omusaayi gye gutambulamu okumala essaawa munàana. Ebyuma byazudde mawuggwe kyokka nti waliwo okunoonyereza okulala kwe bakyatunuulidde era bagenda kumussa ku byuma ebirala.

Abakulembeze abenjawulo okuli Omubaka Nambooze Bakireke ow'ekibuga Mukono yategeezezza nti eggwanga lirina abasawo abakugu naye tebalina byuma era akimanyi nti agenda kukolebwako atereere bulungi akomewo awangule akalulu kubanga y'engabo ya Bannakampala asobola okufuga ekibuga buli muntu n'akkiriza.

Lukwago amaze emyezi ebiri ng'atawaanyizibwa obulwadde era olumu abadde afuna kantoolooze abadde amutuusa n'okumulindiggula ekigwo. Abadde tassa bulungi, afuna kantoolooze n'okuwulira obulumi obw'amaanyi mu kifuba ne mu bulago ssaako omutima okumuluma ennyo.

Omwogezi w'abasuubuzi mu Kikuubo, Samuel Muyomba, yagambye nti Omuloodi bamusabira adde mangu okusobola okunyweza entebe ye kubanga gwe beesiga okukulembera ekibuga abantu okusobola okunyweza eby'obugagga byabwe naddala ettaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...