
Abaziisi abeesabise nga batwala omulambo gwa Mukomazi okumuziika.
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde eyali minisita we ow'ebyobulimi Edward Lutaaya Mukomazi eyafudde oluvannyuma lw'okulumbibwa ssenyiga wa corona.
Mu bubaka bwa Kabaka obwamusomeddwa omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Patrick Mugumbule mu kuziika e Lubowa ku Lwomukaaga, yasaasidde Nnamwandu, abaana n'abazzukulu era n'asaasira n'omukulu w'ekika ky'Ehhonge olw'okufiirwa kuno.

"Twamanyisibwako ku bulwadde obutawanyizza omugenzi okumala akaseera. Twebaza abo bonna abamujjanjabye n'okumulabirira mu kiseera ky'obulwadde." Obubaka bwa Kabaka bwe bwasomeddwa. Kabaka era yeebazizza Katonda olw'obulamu bw'omugenzi n'emirimu gye yamusobozesa okukola eri Obwakabaka, ekika ky'Eggonge n'eggwanga.
Ate Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatenderezza omugenzi olw'okwolesa obumanyi n'okukola n'okwagala we yabeerera mu minisitule y'ebyobulimi e Mmengo mwe yafubira okulaba ng'emiti gisimbibwa mu masaza n'abantu okubeera n'emmere.
NNAMWANDU AYOGEDDE Nnamwandu Robinah Namatovu yategeezezza nti, munne yasannyalala emirundi etaano okuva mu 2014 n'ekyaddirira n'atandika okukaluubirizibwa okwogera. "Abaana mbeebaza okujjanjaba kitaabwe era obumu bwe mulaze mbasaba mubutwale mu maaso. Mbasaba emikwano omugenzi gy'abadde nagyo mugifuule mikwano gyammwe," Namatovu bwe yategeezezza.

CORONA YAMUFUNIRA MU DDWAALIRO Ying. Frank Kitumba eyayogedde ku lw'abaana banne yategeezezza nti, okufuna corona yali mu ddwaaliro. Naye buli omu tusaba yeekume ate tosobola kumanya ngeri gy'ogenda kumufunamu. Taata abadde awaka nga mulamu naye okugenda mu ddwaaliro ate n'afunirayo obulwadde. Olunaku lwe twategeera ate enkeera lwe yafa," bwe yannyonnyodde.
Rev. Samuel Kibuuka, Omusumba w'Obusumba bw'e Bunnamwaya eyakulembeddemu okusabira omugenzi yayongedde okukubiriza abantu okwerinda obulwadde bwa corona era n'abakunga okwenyigira mu kulonda kw'omwaka ogujja okufunira Uganda obukulembeze.
Rev. Kibuuka yakulembeddemu abakungu abatonotono abaabaddewo okwabadde minisita w'abavubuka, emizannyo e Mmengo Henry Ssekabembe Kiberu, eyaliko minisita wa gavumenti ezeebitundu e Mmengo Jolly Lutaaya n'abalala okugenda okusabira entaana ate oluvannyuma aba kkampuni ekola ku kuziika ne baziika bokka. Yazaalibwa September 3, 1953 n'afa nga November 26.